1Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era nʼabafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda.
2Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango.
3Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wabuyinza, kola bulungi osiimibwe,
4kubanga muweereza wa Katonda ku lwʼobulungi bwo. Naye bwʼonookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala kyʼalina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi.
5Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye nʼolwʼokumanya nga kye kituufu.
6Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe.
7Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, nʼowʼempooza mumuwenga empooza; nʼoyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, nʼoyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.
8Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ngʼatuukiriza amateeka.
9
10Ayagala muliraanwa we tamukola bubi; noolwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
11Mumanye nga kino kye kiseera, era essaawa etuuse mugolokoke okuva mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga ne we twakkiririza.
12Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya, noolwekyo tweyambulemu ebikolwa ebyʼekizikiza, twambale ebyokulwanyisa ebyʼomusana.
13Tutambulenga ngʼabʼomu musana, so si mu binyumu ne mu kutamiira, ne mu bwenzi nʼobukaba, ne mu kuyombagana nʼobuggya,
14naye twambale Mukama waffe Yesu Kristo so tetuwanga mubiri bbanga kukola ngʼokwegomba kwagwo bwe kuli.