Abaruumi 14:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango.

2Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka.

3Omuntu asalawo okubaako kyʼalya tanyoomanga atakirya, nʼoyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza.

4Ggwe ani asalira omusango omuweereza wʼomuntu omulala? Mukama we yʼamanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.

5Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala nʼalowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku kyʼalowooza bwe kiba nga kye kituufu.

6Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. Nʼoyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda.

7Kubanga tewali nʼomu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali nʼomu afa ku lulwe.

8Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.

9Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate nʼabeera omulamu, alyoke abeere Mukama wʼabo abaafa era nʼabalamu.

10Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso gʼentebe ya Katonda, eyʼokulamula.

11 Kubanga kyawandiikibwa nti,

11“ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bwʼayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”

12Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

13Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi.

14Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo.

15Kubanga obanga muganda wo anakuwala olwʼekyo kyʼolya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna kyʼomanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira.

16Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa.

17Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.

18Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.

19Noolwekyo tunyiikirirenga ebyʼemirembe, nʼebyʼokuzimbagana ffekka ne ffekka.

20Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olwʼemmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala.

21Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.

22Kyʼokkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo kyʼalowooza nga kituufu.

23Naye oyo abuusabuusa bwʼalya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>