1Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bwʼabo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka.
2Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olwʼokumuzimba mu kukkiriza.
3
4Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube nʼessuubi.
5Kaakano Katonda wʼokugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu,
6mu mwoyo gumu nʼeddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
7Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olwʼekitiibwa kya Katonda.
8Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza wʼabakomole olwʼamazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe
9
10
11
12
13Kaakano Katonda wʼokusuubira, abajjuze essanyu lyonna nʼemirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi eryʼamaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
14Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana.
15Naye mu bitundu ebimu ebyʼebbaluwa eno nabawandiikira nʼobuvumu nga mbajjukiza olwʼekisa ekyampebwa okuva eri Katonda,
16kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo kyʼAbaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.
17Noolwekyo neenyumiririza mu Kristo olwʼomulimu gwa Katonda;
18kubanga siryaŋŋanga kwogera bintu Kristo byʼatakolera mu nze Abaamawanga balyoke babeere abawulize mu kigambo ne mu bikolwa,
19ne mu maanyi agʼobubonero nʼebyʼamagero, ne mu maanyi agʼOmwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi nʼokwetooloola okutuuka mu Iruliko
20Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gwʼomuntu omulala,
21
22Kyennava nziyizibwanga ennyo okujja gye muli;
23naye kaakano nga bwe sikyalina kifo mu bitundu byʼeno, ate nga maze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli, nsubira okujjayo,
24bwe ndiba nga ndaga mu Esupaniya. Kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, nʼoluvannyuma munnyambe okuva eyo ndyoke ntuukirize ekitundu ekisooka.
25Naye kaakano ndaga e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu.
26Abʼomu Makedoniya ne mu Akaya baasanyuka okuwaayo ku byabwe eri abatukuvu abaavu abʼomu Yerusaalemi.
27Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ngʼAbaamawanga bwe baagabana ku bintu ebyʼomwoyo okuva gye bali, nʼAbaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu ebyʼomubiri.
28Noolwekyo bwe ndimaliriza ekyo ne mbakwasa ekibala ekyo, ndiyitira ewammwe nga ŋŋenda Esupaniya.
29Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli, ndijja nʼomukisa gwa Kristo mu bujjuvu.
30Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kwʼOmwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda,
31mpone abo abajeemu mu Buyudaaya, nʼobuweereza bwange busiimibwe abatukuvu mu Yerusaalemi,
32ndyoke nsobole okujja gye muli olwʼokwagala kwa Katonda, okuwummulira awamu nammwe, nga ndi musanyufu.
33Kale kaakano Katonda owʼemirembe, abeerenga nammwe mwenna. Amiina.