1Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza wʼekkanisa[6] eyʼomu Kenkereya.
2Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.
3Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu,
4abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olwʼobulamu bwange, era si beebaza bokka wabula nʼEkkanisa zʼAbamawanga zonna.
4
5Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ngʼekkanisa mu maka gaabwe.
5Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala ekyʼolubereberye ekyʼomu Asiya eri Kristo.
6Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.
6
7Mundabire Anduloniiko ne Yuniya abʼekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.
7
8Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.
8
9Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, nʼomwagalwa waffe Sutaku.
9
10Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo.
10Mundabire nʼabʼomu nnyumba ya Alisutobulo.
11Mundabire Kerodiyoni muganda wange.
11Mundabire abʼomu nnyumba ya Nalukiso.
12Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe.
12Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe.
13Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange.
13
14Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era nʼabooluganda abali nabo.
14
15Mundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa nʼabatukuvu bonna abali awamu nabo.
24Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.
25Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ngʼenjiri yange nʼokubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ngʼekyama kyʼokubikkulirwa ebyʼebiro ebyʼemirembe nʼemirembe ebyasirikirwa, bwe kiri,
26kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ngʼekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olwʼokugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa,
27Katonda omu yekka owʼamagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe nʼemirembe. Amiina.