Abaruumi 2:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne byʼonenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera nʼekyʼokuwoza, kubanga bwʼokola bwʼotyo, weesalira wekka omusango.

2Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ngʼebyo.

3Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ngʼebyo, kyokka nʼonenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka?

4Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, nʼokugumiikiriza kwe nʼobukwatampola bwe? Tomanyi ngʼekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?

5Naye olwʼobukakanyavu bwo nʼomutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lwʼekiruyi nʼokubikkulirwa, Katonda lwʼalisalirako omusango ogwʼobutuukirivu.

6 Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye.

7Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi eryʼokuweebwa ekitiibwa, ettendo nʼobulamu obwʼemirembe nʼemirembe.

8Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu.

9Walibaawo ennaku nʼokubonaabona ku buli mmeeme yʼomuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya nʼoluvannyuma ku Munnaggwanga.

10Naye ekitiibwa nʼettendo nʼemirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya nʼoluvannyuma ku Munnaggwanga.

11Kubanga Katonda tasosola mu bantu.

12Abo bonna abaayonoona olwʼobutamanya mateeka, balizikirira; era nʼabo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka.

13Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu.

14Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu ebyʼAmateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ngʼAmateeka tegaabaweebwa.

15Ekyo kiraga ngʼAmateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ngʼemitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi.

16Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kwʼaliramulira abantu olwʼebyo bye baakisa, ngʼenjiri yange bwʼeri ku bwa Yesu Kristo.

17Abamu ku mmwe mweyita Bayudaaya. Mwesiga amateeka ne mwewaana nga bwe mumanyi Katonda.

18Bwe musoma ebyawandiikibwa muyiga engeri Katonda gyʼayagala mweyise ne muzuula ekituufu.

19Mukakasa nga bwe muli abakulembeze bʼabazibe bʼamaaso, era ettabaaza eri abo bonna abali mu kizikiza.

20Naye olwokubanga, amateeka ga Katonda gatuwa amagezi nʼamazima, mulowooza muyinza okuyigiriza abatali bagezi nʼabaana abato.

21Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki toyinza kweyigiriza wekka? Ategeeza abalala obutabba, tobba?

22Ategeeza obutayenda, toyenda? Akyawa ebifaananyi, si ggwe onyaga ebyʼomu masabo?

23Mwenyumiririza mu mateeka, naye ne muswaza Katonda olwʼobutagatuukiriza.

24 Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Olwʼebikolwa byammwe ebyo, erinnya lya Katonda kyelivudde livvoolebwa mu mawanga.”

25Okukomolebwa kugasiza ddala bwʼokwata amateeka, naye bwʼotagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo nʼatali mukomole.

26Kale obanga atali mukomole akwata amateeka, talibalibwa ngʼeyakomolebwa?

27Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ngʼakuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike nʼotagatuukiriza ate nga wakomolebwa.

28Okweyisa ngʼOmuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini.

29Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okwʼomubiri. Omuntu ngʼoyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>