Abaruumi 3:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki?

2Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.

3Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olwʼokuba nga bo tebaalina kukkiriza?

4 Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

4“Olyoke otuukirire mu bigambo byo, era osinge bwʼosala omusango.”

5Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era nʼatubonereza? Mu kino njogera ngʼomuntu.

6Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango?

7Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bwʼali owʼamazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ngʼomwonoonyi?

8Era okyayinza okwongerako na kino nti Tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ngʼabamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.

9Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti Ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, nʼakatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga.

10Ngʼebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

10“Tewali mutuukirivu nʼomu.

11Tewali ategeera wadde anoonya Katonda.

12 Bonna baakyama, bonna awamu baafuuka kitagasa; tewali nʼomu akola obulungi, tewali nʼomu.”

13 “Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde, nʼemimwa gyabwe gijjudde obulimba.” “Buli kigambo ekibavaamu kiri ngʼobusagwa bwʼomusota.”

14 “Emimwa gyabwe gijjudde okukolima nʼobukyayi.

15Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,

16buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.

17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”

18 “Nʼokutya tebatya Katonda.”

19Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lwʼabo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ngʼensi yonna bwe yasobya.

20Kubanga tewali nʼomu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olwʼebikolwa byʼamateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.

21Kale kaakano tutegeere ngʼobutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi.

22Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olwʼokukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola.

23Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda.

24Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olwʼekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo;

25Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olwʼomusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri ebyʼedda.

26Kino kiraga Katonda bwʼalaga okwaniriza kwʼalina eri abantu mu biro bino, bwe baba nʼokukkiriza mu Yesu.

27Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza.

28Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka.

29Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda wa mawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe.

30Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, nʼabo abataakomolebwa olwʼokukkiriza kwabwe.

31Kale amateeka tugaggyewo olwʼokukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>