Abaruumi 4:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Kale kiki kye tunaayogera ku jjajjaffe Ibulayimu ku bikwata ku byʼomubiri?

2Singa Ibulayimu yaweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, yandyenyumirizza, naye si eri Katonda.

3 Ebyawandiikibwa bitugamba bitya? Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

4Omuntu bwʼakola omulimu, asasulwa empeera ye. Empeera gyʼaweebwa, teba kirabo.

5Katonda tayinza kukusembeza olwʼebikolwa byo. Katonda asembeza aboonoonyi olwʼokukkiriza kwe balina mu ye.

6Kabaka Dawudi naye yayogera kye kimu ku muntu ono Katonda gwʼawa obutuukirivu obutavudde mu bikolwa bye ngʼagamba nti:

7“Baweereddwa omukisa, abasonyiyiddwa ebyonoono byabwe, ne baggyibwako ebibi byabwe.

8 Aweereddwa omukisa omuntu, Mukama gwʼatalibalira kibi.”

9Kale omukisa guno, gwʼabakomole bokka oba nʼabatali bakomole? Ebyawandiikibwa bitugamba nti Okukkiriza kwa Ibulayimu kwamubalirwa okuba obutuukirivu.

10Kale, kwamubalirwa kutya? Ngʼakomolebbwa oba nga tannakomolebwa? Nedda si ngʼakomolebbwa naye nga tannakomolebwa.

11Akabonero ke yafuna akʼokukomolebwa, ye nvumbo ku butuukirivu olwʼokukkiriza kwe, nga tannakomolebwa, alyoke abeere jjajja wʼabo bonna abakkiriza nga si bakomole, nabo balyoke babalirwe obutuukirivu.

12Ate era ye jjajja wʼabantu bonna, abakomole, era abatambulira mu kkubo eryʼokukkiriza, jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.

13Ibulayimu nʼezzadde lye tebaaweebwa kisuubizo ekyʼokulya ensi yonna, ngʼomugabo gwe, lwa kukwata mateeka. Katonda, ensi yagimusuubiza lwa butuukirivu obwamuweebwa olwʼokukkiriza.

14Kale obanga baweebwa obusika lwʼamateeka, okukkiriza kuba tekugasa, era nga nʼekisuubizo tekirina makulu.

15Katonda anyiiga Amateeka ge bwe gatagonderwa. Naye bwe wataba mateeka, tewaba mateeka ga kujeemera.

16Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye nʼeri ezzadde erya Ibulayimu olwʼokukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna.

17 Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja wʼamawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso gʼoyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ngʼebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.

18 Katonda yasuubiza Ibulayimu abazzukulu bangi. Ne bwe kyalabika ngʼekitasoboka, Ibulayimu yalina okukkiriza mu Katonda, nʼoluvannyuma nʼabeera jjajja wʼamawanga mangi, okusinziira ku ekyo ekyayogerwa nti, “Ezadde lyo bwe liriba.”[3]

19Teyatendewererwa mu kukkiriza, newaakubadde nga yali wa myaka nga kikumi, nga nʼomubiri gwe munafu nnyo, ate nga ne Saala mugumba.

20Teyabuusabuusa kisuubizo kya Katonda mu butakkiriza, naye yaweebwa amaanyi lwa kukkiriza; nʼagulumiza Katonda.

21Yakakasiza ddala nti Katonda kye yasuubiza asobola okukituukiriza,

22era bwe kityo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

23Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti, “Kyamubalirwa okuba obutuukirivu;”

24naye era naffe, abakkiririza mu oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu.

25Kristo yaweebwayo okuttibwa olwʼebibi byaffe, nʼazuukizibwa tulyoke tuweebwe obutuukirivu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>