Abaruumi 5:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olwʼokukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo,

2era olwʼokukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda.

3Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ngʼokubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza.

4Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, nʼembala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi.

5Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

6Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi.

7Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lwʼomuntu omulungi.

8Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo nʼatufiirira.

9Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olwʼomusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda.

10Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kwʼOmwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olwʼobulamu bwe?

11So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

12Ekibi kyajja mu nsi olwʼomuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri yʼemu olwʼokuba nga bonna baayonoona, bonna balifa.

13Ekibi kyaliwo mu nsi ngʼamateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olwʼebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo.

14Kyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu nʼabo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma.

15Naye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kwʼomuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda nʼekirabo ekiri mu kisa kyʼomuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi.

16Waliwo enjawulo nnene wakati wʼekibi kya Adamu nʼekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gyʼali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi.

17Obanga olwʼokwonoona kwʼomuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda nʼekirabo ekyʼobutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olwʼomuntu omu Yesu Kristo?

18Kale ngʼabantu bonna bwe baasalirwa omusango olwʼekibi ekimu, bwe kityo nʼolwʼekikolwa ekimu ekyʼobutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu.

19Obujeemu bwʼomuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo nʼobuwulize bwʼomuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.

20Amateeka gaatekebwawo, amaanyi gʼekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo.

21Ngʼekibi bwe kyafugira mu kufa, nʼekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>