Abaruumi 7:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ngʼamateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu?

2Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bwʼaba ngʼakyali mulamu. Naye bba bwʼafa, omukazi oyo ngʼasumuluddwa mu tteeka eribagatta.

3Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta nʼomusajja omulala, bba ngʼakyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bwʼafanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bwʼanaafumbirwanga omusajja omulala.

4Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda.

5Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kwʼebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe ebyʼomubiri olwʼamateeka, era enkomerero kwali kufa.

6Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde eyʼamateeka.

7 Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. Nʼokwegomba kwʼomubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.”

8Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu.

9Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, nʼokufa ne nfa.

10Era nʼenkizuula ngʼetteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa.

11Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita.

12Noolwekyo amateeka matukuvu, era nʼekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.

13Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.

14Tumanyi ngʼamateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ngʼomuddu nfugibwe ekibi.

15Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola.

16Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ngʼamateeka malungi.

17Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze.

18Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi nʼakamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola.

19Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola.

20Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

21Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi.

22Mu nze mu muntu owʼomunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda.

23Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka agʼenjawulo nga gawakana nʼetteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe wʼamateeka agʼekibi, ekikolera mu mubiri gwange.

24Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa?

25Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.

25Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu wʼamateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ngʼokwegomba kwange okwʼomubiri, mpeereza etteeka lyʼekibi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>