1Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okwʼomubiri wabula ne bagoberera Omwoyo.
2Kubanga etteeka eryʼOmwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka lyʼekibi nʼokufa.
3Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olwʼokunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi kyʼomubiri ogwʼekibi, nʼasalira ekibi omusango mu mubiri.
4Ekyo kyabaawo, ebyʼobutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.
5Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo.
6Okulowooleza mu byʼomubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu nʼemirembe.
7Kubanga okulowooza ebyʼomubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo ebyʼomubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda.
8Nʼabo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.
9Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bwʼataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo.
10Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olwʼekibi, ate ngʼomwoyo gwammwe mulamu olwʼobutuukirivu.
11Era obanga Omwoyo wʼoyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bwʼOmwoyo we abeera mu mmwe.
12Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira.
13Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa ebyʼomubiri, muliba balamu,
14kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda.
15Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bwʼoyo tumukoowoola nti Aba, Kitaffe.
16Omwoyo yennyini akakasiza wamu nʼomwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.
17Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.
18Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa nʼekitiibwa ekiritubikulirwa.
19Ebitonde birindirira nʼessuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa.
20Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bwʼoyo eyabifugisa, mu kusuubira.
21Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu nʼabaana ba Katonda ekitiibwa ekyʼokuba mu ddembe.
22Tumanyi ngʼebitonde byonna bisinda era ne birumwa ngʼomukazi alumwa okuzaala bwʼabeera.
23Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye ebyʼOmwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kwʼemibiri gyaffe.
24Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira kyʼalabako?
25Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira nʼokugumiikiriza.
26NʼOmwoyo bwʼatyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra nʼokusinda okutayogerekeka.
27Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo kyʼalowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ngʼokusiima kwa Katonda bwe kuli.
28Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ngʼokuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olwʼobulungi.
29Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi kyʼOmwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi.
30Abo be yalonda, nʼokubayita yabayita, nʼabo be yayita, yabawa obutuukirivu, nʼabo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.
31Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bwʼabeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa?
32Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye nʼamuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye?
33Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda yʼawa obutuukirivu.
34Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ngʼatwegayiririra.
35Ani alitwawukanya nʼokwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala?
36
37Naye mu bino byonna tuwangudde nʼokukirawo ku bwʼoyo eyatwagala.
38Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi,
39wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya nʼokwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.