Abaruumi 9:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu,

2nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima.

3Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli abʼomu mubiri,

4be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, nʼakola nabo endagaano, nʼabawa nʼamateeka ge. Yeekaalu yagibawa, nʼabawa nʼebyasuubizibwa.

5Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.

6Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna abʼomu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala.

7 Ate so si nti lyʼezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.”

8Kino kitegeeza nti Abaana abʼomubiri si be baana ba Katonda, wabula abo abʼokusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu.

9 Kubanga ekigambo kyʼokusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”

10Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto.

11Naye ngʼabalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli,

12 si lwa bikolwa wabula ku bwʼoyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu yʼaliba omuweereza wʼomuto.”

13 Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Essawu namukyawa.”

14Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe.

15 Agamba Musa nti,

15“Ndisaasira oyo gwe ndisaasira, era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”

16Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu byʼayagala newaakubadde byʼakola, wabula ku kusaasira kwa Katonda.

17 Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.”

18Noolwekyo Katonda asaasira oyo gwʼayagala okusaasira, ate nʼakakanyaza omutima gwʼoyo gwʼayagala okukakanyaza.

19Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga yʼatuleetera okukola nga bwʼasiima?

20 Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ngʼowakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bwʼoti?”

21Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya ekyʼomugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?

22Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, nʼamaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka nʼabalaga obugumiikiriza.

23Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bwʼekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye.

24Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye nʼAbaamawanga.

25 Ne mu Koseya agamba nti,

25“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange, Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”

26 Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti, “Temuli bantu bange, mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”

27 Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Omuwendo gwʼabaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ngʼomusenyu gwʼennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.

28Kubanga Mukama alisalawo era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”

29 Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti, “Singa Mukama owʼEggye teyatulekerawo zzadde, twandifuuse nga Sodomu, era twandifaananye nga Ggomola.”

30Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza,

31naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka agʼobutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo?

32Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako,

33 nga bwe kyawandiikibwa nti,

33“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[4] nʼolwazi olulibasuula. Oyo amukkiriza taliswazibwa.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>