Amosi 1:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi bʼendiga mu bitundu byʼe Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gyʼemirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga yʼafuga Isirayiri.

2Amosi yagamba nti, “Mukama awuluguma ngʼasinziira mu Sayuuni, era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi; omuddo mu malundiro gulikala nʼentikko yʼolusozi Kalumeeri erisigala njereere.”

3Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Ddamasiko ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga baabonereza nnyo abantu bʼe Gireyaadi nga babasalaasala nʼebyuma.

4Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri era njokye nʼebigo bya kabaka Benikadadi.

5Era ndimenya enzigi zʼekibuga Ddamasiko era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu kyʼe Aveni, oyo akwata omuggo ogwʼobwakabaka mu Besiadeni. Abantu bʼe Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”

5bwʼayogera Mukama.

6Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Gaza ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe nʼalitunda eri Edomu.

7Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza ogulyokya ebigo byakyo.

8Ndizikiriza atuula mu Asudodi, nʼoyo akwata omuggo gwʼobwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni. Ndibonereza Ekuloni okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”

8bwʼayogera Mukama.

9Mukama bwʼati bwʼayogera nti, “Olwʼebyonoono bya Ttuulo ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe nʼamenya endagaano eyʼobwaseruganda eyali ekoleddwa,

10kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo, ogunaayokya ebigo byakyo.”

11Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Edomu ebisatu, weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayigganya muganda we nʼekitala awatali kusaasira, obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma era ne batabusalako.

12Ndiweereza omuliro ku Temani oguliyokya ebigo bya Bozula.”

13Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Amoni ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Mu ntalo ezʼokugaziya ensi ye, yabaaga abakazi abaali embuto abʼe Giriyaadi.

14Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba, era gulyokya ebigo byakyo. Walibaawo nʼoluyoogaano olunene ku lunaku olwʼolutalo mu mpewo eyʼamaanyi, kibuyaga ngʼakunta.

15Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ye nʼabakungu be bonna,”

15bwʼayogera Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>