Amosi 2:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Mowaabu ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu ne gafuuka evvu.

2Ndiweereza omuliro ku Mowaabu era gulyokya ebigo bya Keriyoosi. Abantu ba Mowaabu balifiira wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana nʼokufuuwa amakondeere.

3Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu nʼabakungu baamu bonna, ndibatta,”

3bwʼayogera Mukama.

4Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amateeka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda abʼobulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.

5Ndiweereza omuliro ku Yuda ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”

6Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Olwʼebyonoono bya Isirayiri ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Batunda obutuukirivu bafune ffeeza, ne batunda nʼabaavu olwʼomugogo gwʼengatto.

7Balinnyiririra emitwe gyʼabaavu mu nfuufu, nʼabajoogebwa ne batalamulwa mu bwenkanya. Omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange.

8Bagalamira okumpi ne buli kyoto ku ngoye ezaweebwayo ngʼobweyamo. Mu nnyumba ya bakatonda baabwe mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.”

8

9“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe newaakubadde nga baali bawanvu ngʼemivule era nga bamaanyi ngʼemyera. Nazikiriza ebibala ebyali waggulu okutuuka ku mirandira egyali wansi.

10Nakuggya mu nsi yʼEmisiri, ne nkukulemberera emyaka amakumi ana mu ddungu, weetwalire ensi yʼAbamoli.

11Nayimusa abamu ku batabani bammwe okubeera ba nnabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge ba Mukama. Si bwe kiri bwe kityo abantu ba Isirayiri?”

11bwʼayogera Mukama.

12“Naye mmwe ne mudda mu kuwa Abawonge ba Mukama omwenge okunywa, ne muwa bannabbi amateeka nga mubagamba nti Temuwa byabunnabbi.

13Laba, ndibasesebbula ngʼeggaali eryettisse emmere eyʼempeke bwe lisesebbula ekiri mu kkubo lyalyo.

14Abanguwa tebaliwona, nʼabʼamaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe era nʼomuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.

15Omukubi wʼobusaale omukugu taliyimirira kunywera, nʼomuserikale owʼebigere nnakinku talisobola kuwenyuka. Abo abasajja abazira abeebagazi bʼembalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.

16Ku lunaku olwo abalwanyi abazira nnamige balidduka bukunya!”

16bwʼatyo bwʼayogera Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>