1Muwulire ekigambo kino Mukama kyʼaboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.
2“Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olwʼebibi byammwe byonna.”
3Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?
4Empologoma ewulugumira mu kisaka nga terina muyiggo? Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo nga teriiko kyʼekutte?
5Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza?
6Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya? Akabenje kagwa mu kibuga nga Mukama si yʼakaleese?
7Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.
8Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Mukama Katonda ayogedde ani ataawe bubaka bwe?
9Langirira eri ebigo byʼe Asudodi nʼeri ebigo byʼe Misiri nti, “Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi zʼe Samaliya mulabe akajagalalo akanene akali eyo nʼabantu be nga bwe bajoogebwa.”
10Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza ebigo byabwe nʼebintu ebinyage, tebamanyi kukola kituufu.”
11Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Omulabe alirumba ensi, nʼamenyaamenya ebigo byo ebyʼamaanyi era nʼabinyagulula.”
12Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ngʼomusumba bwʼagezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa kʼempologoma nʼasikayo amagulu abiri obubiri nʼekitundu kyʼokutu, bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa, abo abatuula mu Samaliya ku nkomerero yʼebitanda byabwe ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.
13“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bwʼayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.
14“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olwʼebibi bye, ndisaanyaawo ebyoto byʼe Beseri, nʼamayembe gʼekyoto galisalibwako ne gagwa wansi.
15Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera ebyʼobutiti, awamu nʼennyumba ebeerwamu mu biseera eyʼebbugumu; era ndimenyaamenya nʼennyumba ezayolebwa nʼamasanga, ne nsanyaawo nʼembiri,”