Amosi 4:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Muwulire kino mmwe ente ezʼomu Basani ezibeera ku Lusozi Samaliya, mmwe abakazi abajooga abaavu ne munyigiriza abanaku, era abagamba babbaabwe nti, “Mutuletereyo ekyokunywa.”

2Mu butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti, “Ekiseera kijja lwe balibasika nʼamalobo, era abalisembayo ku mmwe ne basikibwa nʼamalobo agavuba.

3Mulisikibwa okuva mu mayumba gammwe ne musuulibwa ebweru nga muyisibwa mu bituli ebibotoddwa mu bbugwe, musuulibwe ku Kalumooni,

3bwʼayogera Mukama.

4Kale mmwe mugende e Beseri mukoleyo ebitasaana; era mugende ne Girugaali mwongere okukola ebibi. Mutwalengayo ssaddaaka zammwe buli nkya, nʼekimu ekyʼekkumi buli myaka esatu.

5Muweeyo ekiweebwayo ekyʼokwebaza ekyʼemigaati egizimbulukusibbwa, mulangirire nʼebiweebwayo ebyʼekyeyagalire; mwe mwenyumiririza, mmwe Abayisirayiri kubanga ekyo kye mwagala,”

5bwʼayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

6“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga, ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga, naye era ne mugaana okudda gye ndi,”

6bwʼayogera Mukama.

7“Ne mbamma enkuba ngʼekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke. Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu ne ngiziyiza mu kirala. Yatonnyanga mu nnimiro emu, mu ndala nʼetatonnya, ebirime ne biwotoka.

8Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko, naye ne gababula; naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”

8bwʼayogera Mukama.

9“Emirundi mingi ebirime byammwe na bigengewaza. Nabileetako obulwadde. Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe nʼemizeeyituuni gyammwe, naye era temwadda gye ndi,”

9bwʼayogera Mukama.

10“Nabasindikira kawumpuli nga gwe nasindika mu Misiri. Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo nʼekitala awamu nʼembalaasi zammwe ze mwawamba. Okuwunya kwʼolusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo naye era ne mugaana okudda gye ndi,”

10bwʼayogera Mukama.

11“Nazikiriza abamu ku mmwe nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola, ne muba ngʼolumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka naye era ne mulema okudda gye ndi,”

11bwʼayogera Mukama.

12“Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri, era ndikwongerako ebibonoobono. Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”

13Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi era ye yatonda nʼembuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro, era alinnya mu bifo ebigulumivu ebyʼensi. Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>