4Bwʼati bwʼayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti, “Munnoonye kale munaabanga balamu.
5Temunnoonyeza Beseriso temulaga Girugaaliwadde okulaga e Beeruseba.Kubanga abantu bʼe Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguseera ne Beseri kiriggwaawo.”
6Munoonye Mukama munaabanga balamualeme okubuubuuka ngʼomuliro ku nnyumba ya Yusufu;guligyokyanga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.
7Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba ekyʼokufumwa obufumwamutulugunya obutuukirivu.
8Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ngʼebizungiriziera afuula ekisiikirize okubeera enkyaera akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,ayita amazzi gʼomu nnyanjane gafukirira ensi ngʼenkuba,Mukama lye linnya lye.
9Okutemya nʼokuzibula aleeta okuzikirira ku bʼamaanyiera nʼasaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.
10Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanyaera munyooma nʼabo aboogera amazima.
11Olinnyirira omwavu,nʼomuwaliriza okukuwa emmere eyʼempeke.Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba agʼamayinja,temuligabeeramu;era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro zʼemizabbibu ennungi,temulinywa ku wayini waamu.
12Ebibi byammwe mbimanyi,nga bingi ate nga bisasamaza.Munyigiriza omutuukirivu ne mulya nʼenguzi,abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.