Amosi 6:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni, nʼabo abawulira emirembe ku lusozi lwʼe Samaliya. Mmwe abasajja abeekitiibwa abʼensi enkulembeze, abantu ba Isirayiri gye beeyuna.

2Mugende mulabe e Kalune; muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu, ate era muserengete mu kibuga kyʼAbafirisuuti ekyʼe Gaasi. Basinga obwakabaka bwammwe obubiri? Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?

3Mulindiriza olunaku olwʼekibi, ate ne musembeza effugabbi.

4Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga ne muwummulira mu ntebe ennyonvu nga muvaabira ennyama yʼendiga nʼeyʼennyana ensava.

5Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga, ne muyiiya nʼennyimba ku bivuga.

6Mwekatankira wayini, ne mwesiiga nʼebizigo ebirungi, naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.

7Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse. Era embaga zammwe nʼokwewummuza birikoma.

8Mukama Katonda owʼEggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti, “Neetamiddwa amalala ga Yakobo, nkyawa ebigo bye, era nzija kuwaayo ekibuga ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”

9Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa.

10Era singa owʼekika akola ku byʼokuziika, anaaba afulumya amagumba nʼabuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, nʼaddamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ngʼagamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”

11Laba Mukama alagidde, ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa, nʼennyumba entono erimenyebwamenyebwa.

12Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja? Waali wabaddewo abalima ku mayinja nʼenkumbi ezisikibwa ente? Naye obwenkanya mubufudde obutwa nʼekibala ekyʼobutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.

13Mwenyumiririza bwereere nti muli bʼamaanyi olwʼokuba nga mwawamba ekibuga Lodeba. Mwogera nti “Tetwawamba Kanayimu nʼamaanyi gaffe?”

14Mukama Katonda owʼEggye agamba nti, “Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri; liribajooga ebbanga lyonna okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>