Amosi 7:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Bino Mukama Katonda bye yandaga. Yali ateekateeka ebibinja byʼenzige okusaanyaawo ebirime ebyalimwanga, nga baakakungula olukungula olusooka ssinziggu, kabaka kwʼafuna omusolo.

2Enzige bwe zaalya buli kantu akaali mu nnimiro akalamu, nʼenkaaba nti, “Mukama Katonda, sonyiwa abantu bo nkwegayiridde. Yakobo aliwona atya? Nga mutono nnyo.”

3Mukama bwe yawulira okukaaba kuno nʼakyusa ekirowoozo kye, nʼagamba nti, “Ekyo tekiribaawo.”

4Bino Mukama bye yayongera okundaga. Yali ategeka okubonereza abantu nʼomuliro. Gwalya ennyanja eyali wansi wʼensi ne gumalawo nʼolukalu.

5Ne nkaaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde osonyiwe abantu bo! Yakobo anaasobola atya okusigalawo? Nga mutono nnyo!”

6Awo Mukama bwe yawulira okukaaba kuno, nʼakyusa ekirowoozo kye era nʼagamba nti, “Era nʼekyo tekijja kubeerawo.”

7Ate Mukama nʼandaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ngʼayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe.

8Mukama nʼambuuza nti, Amosi, kiki kyʼolaba? Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.” Mukama nʼalyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku kyʼokubabonereza.

9Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa, nʼebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo. Nʼennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa nʼekitala.”

10Awo Amaziya kabona wʼe Beseri nʼaweereza kabaka wa Isirayiri, Yerobowaamu, obubaka ngʼagamba nti, “Amosi agezaako okukulyamu olukwe wakati mu Isirayiri mwennyini. Ensi teyinza kugumira bigambo bye.”

11Bwʼati Amosi bwʼayogera nti,

11“ ‘Yerobowaamu alifa kitala, ne Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse bave mu nsi yaboobwe.’ ”

12Awo Amaziya nʼalyoka alagira Amosi nti, “Vva wano ggwe omulabi[1]. Ddayo mu nsi ya Yuda gyʼoba oweera obunnabbi, ofunire eyo omusaala gwo.

13Toweera wano bunnabbi nate e Beseri kubanga luno lubiri lwa kabaka era ssinzizo lya bwakabaka.”

14Amosi nʼamuddamu nti, “Saali nnabbi oba omwana wa nnabbi nnali mulunzi wa ndiga era nga ndabirira miti emisukamooli.

15Naye Mukama yanziggya eyo mu kulunda ekisibo nʼaŋŋamba nti, ‘Genda owe obunnabbi abantu bange, Isirayiri.’ ”

16Noolwekyo ggwe wuliriza ekigambo kya Mukama. Ogamba nti,

16“ ‘Towa bunnabbi bunenya Isirayiri, era lekaraawo okubuulira ebikwata ku nnyumba ya Isaaka.’ ”

17“Mukama kyava akuddamu nti, ‘Mukazi wo alifuuka malaaya mu kibuga era nʼabaana bo aboobulenzi nʼaboobuwala balifa ekitala. Ettaka lyo lirigabanyizibwamu ne liweebwa abalala naawe kennyini olifiira mu nsi eyʼabakafiiri. Ekituufu kiri nti abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse, ne baggyibwa mu nsi yaboobwe.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>