Amosi 8:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde.

2Mukama nʼambuuza nti, “Amosi, kiki kyʼolaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero kyʼebibala ebyengedde.” Mukama nʼalyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera ekyʼokubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.”

3“Ku lunaku olwo,” bwʼayogera Mukama Katonda, “okuyimba kwʼomu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”

4Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola, era abasaanyaawo abanaku bʼomu nsi,

5nga mwogera nti, “Ennaku enkulu ezʼOmwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi, tulyoke tutunde emmere yaffe eyʼempeke, era ne Ssabbiiti eggwaako ddi, tutunde eŋŋaano yaffe?” Mukozesa minzaani enkyamu ne mwongera emiwendo ne mukozesa nʼebipimo ebitatuuse,

6mmwe abagula abaavu nʼeffeeza nʼabanaku ne mubagula nʼomugogo gwʼengatto, ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.

7Mukama yeeweredde Amalala ga Yakobo ngʼagamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.

8Ensi terikankana olwʼekyo, na buli abeeramu nʼakungubaga? Ensi yonna eritumbiira ngʼomugga Kiyira nʼekka ngʼamazzi agʼomugga gwʼe Misiri bwe gakola.”

9Mukama Katonda agamba nti, “Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.

10Embaga zammwe ezʼeddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba. Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu nʼemitwe gyammwe mugimwe. Olunaku olwo ndilufuula ngʼolwʼokukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka, era nʼenkomerero yaabyo ekaayire ddala.”

10

11“Ekiseera kijja,” bwʼayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta yʼamazzi, naye eriba enjala yʼekigambo kya Katonda.

12Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala, bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikifuna.”

13“Mu biro ebyo, abawala ababalagavu nʼabalenzi abʼamaanyi balizirika olwʼennyonta.

14Abo abaalayira ebyʼensonyi ebyʼe Samaliya oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bwʼali omulamu ggwe Ddaani,’ oba nti, ‘Nga katonda wʼe Beeruseba bwʼali omulamu,’ baligwa obutayimuka nate.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>