Amosi 9:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ngʼayimiridde ku mabbali gʼekyoto, nʼayogera nti, “Mukube emitwe gyʼempagi bya yeekaalu nʼamaanyi mangi, emifuubeeto gikankane. Bisesebbuke bikube emitwe gyʼabantu bonna, nʼabo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala. Tewaliba nʼomu awona.

2Ne bwe balisima ne baddukira emagombe, omukono gwange gulibaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu ndibawanulayo.

3Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri, ndibanoonyaayo ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bwʼennyanja ndiragira ogusota ne gubalumirayo.

4Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse, era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo. Ndibasimba amaaso ne batuukibwako bibi so si birungi.”

4

5Era Mukama, Mukama owʼEggye, akwata ku nsi nʼesaanuuka, abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga, ensi yonna nʼetumbiira nga Kiyira ate nʼekka ngʼamazzi gʼomugga gwʼe Misiri;

6oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi gʼennyanja, nʼagayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.

6

7Mukama ayongera nʼagamba nti, “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ngʼAbakuusi gye ndi? Ssabaggya mu nsi yʼe Misiri nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli, nʼAbasuuli e Kiri?”

8“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda, gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi. Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya okuva ku nsi. Kyokka sirizikiririza ddala ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”

8bwʼayogera Mukama.

9“Kubanga ndiwa ekiragiro, ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa mu mawanga gonna, ngʼemmere eyʼempeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta era tewaliba kayinja akaligwa wansi.

10Aboonoonyi bonna mu bantu bange, balifa kitala, abo bonna aboogera nti, ‘Akabi tekalitutuukako.’ ”

11“Mu biro ebyo ndizzaawo ennyumba ya Dawudi eyagwa era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa, ne nzizaawo ebyali amatongo, ne biba nga bwe byabeeranga,

12balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo nʼamawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”

12bwʼayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.

13“Ennaku zijja,” bwʼayogera Mukama, “akungula lwʼalisinga asiga, nʼasiga ensigo lwʼalisinga atunda emizabbibu. Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi, nʼakulukuta okuva mu busozi.

14Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse, ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu. Balisimba ennimiro zaabwe ezʼemizabbibu ne banywa wayini avaamu, era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.

15Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe, era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,”

15bwʼayogera Mukama Katonda wammwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>