1Mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni nʼalumba Yerusaalemi.
2Mukama nʼawaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mu mukono gwa Nebukadduneeza, era nʼebintu ebimu ebyʼomu yeekaalu ya Katonda, Nebukadduneeza nʼabiggyamu nʼabitwala e Babulooni nʼabiteeka mu ggwanika eryʼomu ssabo lya lubaale we.
3Nebukadduneeza nʼalagira Asupenaazi omukulu wʼabalaawe be alonde mu Bayisirayiri abʼomu lulyo olulangira, ne mu bakungu,
4abavubuka abataliiko kamogo, abalabika obulungi mu maaso, nga bategeevu mu nsonga zonna ne mu byʼamagezi byonna, era abakalabakalaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenaazi yalina obuvunaanyizibwa obwʼokubayigirizanga amagezi gʼAbakaludaaya, nʼolulimi lwabwe.
5Kabaka nʼalagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, nʼoluvannyuma bagende baweereze kabaka.
6Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era nʼamannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya.
7Asupenaazi nʼabawa amannya amaggya: Danyeri nʼamutuuma Berutesazza, Kananiya nʼamutuuma Saddulaaki, Misayeri nʼamutuuma Mesaki, ne Azaliya nʼamutuuma Abeduneego.
8Naye Danyeri nʼamalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, nʼasaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa.
9Mu biro ebyo Katonda nʼakozesa Asupenaazi okulaga ekisa nʼokusaasira eri Danyeri.
10Asupenaazi nʼagamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo nʼebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala abʼemyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.”
11Awo Danyeri nʼagamba omusigire wa Asupenaazi, Asupenaazi gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya nti,
12“Nkwegayiridde ogezese abaddu bo okumala ennaku kkumi, oleme kubawa kintu kirala kyonna okuggyako enva endiirwa nʼamazzi agʼokunywa.
13Nʼoluvannyuma otugeraageranye nʼabavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bwʼonoolaba.”
14Nʼakkiriziganya nabo ku nsonga eyo, nʼabagezesa okumala ennaku kkumi.
15Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali banyiridde era nga bafaanana bulungi okusinga abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka.
16Awo omusigire nʼalekayo okubawa emmere yaabwe eyʼenjawulo ne wayini gwe baali bateekwa okunywa, nʼabawa enva endiirwa.
17Abavubuka abo abana, Katonda nʼabawa amagezi nʼokutegeera ebyʼokuyiga ebyʼengeri zonna; Danyeri nʼasukkirira mu kutegeera okwʼokuvvuunula okwolesebwa okwʼengeri zonna, nʼebirooto.
18Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi nʼabaleeta nʼabalaga eri Nebukadduneeza.
19Kabaka nʼayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egyʼobuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka.
20Buli nsonga eyʼamagezi nʼeyʼokutegeera kabaka gye yababuuzanga, baali bagitegeera emirundi kkumi okusinga abasawo nʼabafumu bonna, mu bwakabaka bwe bwonna.
21Awo Danyeri nʼaba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogwʼolubereberye ogwa Kabaka Kuulo.