1Mu mwaka ogwokusatu ogwʼobufuzi bwa Kuulo kabaka wʼe Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nʼafuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kyamazima nga kyogera ku lutalo olwʼamaanyi. Nʼategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.
2Mu biro ebyo, nze Danyeri ne mmala wiiki ssatu nga nkungubaga.
3Saalya ku mmere ennungi, newaakubadde ennyama wadde okunywa ku wayini; era ne nsiwuukira ddala okumala wiiki ssatu.
4Ku lunaku olwʼamakumi abiri mu ennya olwʼomwezi ogwʼolubereberye nga nyimiridde ku mabbali gʼomugga omunene Tigiriisi,
5ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula waggulu, ne ndaba omusajja ayambadde linena, nga yeesibye olukoba olwa zaabu ennongooseemu mu kiwato.
6Omubiri gwe gwali gumasamasa ngʼejjinja erya berulo, nʼekyenyi kye nga kiri ngʼokumyansa okwʼeggulu, nʼamaaso ge nga gali ngʼettabaaza ezʼomuliro, nʼemikono gye nʼamagulu ge nga biri ngʼebbala lyʼekikomo ekizigule, nʼeddoboozi lye ngʼoluyoogaano olwʼekibiina ekinene.
7Nze Danyeri nzekka, nze nalaba okwolesebwa okwo, abasajja be nnali nabo tebaakulaba, wabula bajjula entiisa, ne badduka ne beekweka.
8Ne nsigala nzekka, nga neewuunya okwolesebwa okunene okwo; ne nzigwamu amaanyi; amaaso gange ne gayongobera, ne mba, nga seesobola.
9Awo ne mpulira ngʼayogera, era bwe nnali nga nkyamuwuliriza, ne neebaka otulo tungi nnyo, amaaso gange nga gatunudde wansi ku ttaka.
10Ne wabaawo omukono ogunkwatako, emikono gyange nʼamaviivi gange ne bitanula okujugumira.
11Nʼaŋŋamba nti, “Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera era osseeyo omwoyo ku bigambo bye njogera naawe, era yimuka oyimirire kubanga ntumiddwa gyʼoli.” Awo bwe yayogera ebigambo ebyo gye ndi ne nnyimirira nga nkankana.
12Nʼalyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olwʼebigambo byo.
13Namala ennaku amakumi abiri mu lumu nga nkyalwana nʼomulangira wʼe Buperusi, naye Mikayiri omu ku balangira abakulu nʼajja nʼannyamba, kubanga kabaka wʼe Buperusi yali ankwatidde eyo.
14Kaakano nzize okukunnyonnyola ebigenda okutuuka ku bantu bo mu biro ebyʼomu maaso; kubanga bye wayolesebwa byogera ku biro ebigenda okujja.”
15Awo bwe yali ngʼakyambuulira ebyo, ne nkutama, ne ntunuza amaaso gange wansi, ne nsirika.
16Awo ne wajja eyafaanana ngʼomuntu nʼakoma ku mimwa gyange, ne ntanula okwogera. Ne ŋŋamba eyali annyimiridde mu maaso nti, “Mukama wange nzijjudde obuyinike, era nʼamaanyi sirina olwʼebyo bye njolesebbwa.
17Nnyinza ntya nze omuddu wo okwogera naawe ggwe mukama wange? Amaanyi gampweddemu, sikyayinza na kussa bulungi mukka.”
18Nate eyafaanana ngʼomuntu nʼankomako nʼanzizaamu amaanyi.
19Nʼaŋŋamba nti, “Ggwe omwagalwa ennyo, totya. Emirembe gibeere gyʼoli, guma omwoyo era beera nʼobuvumu.”
20Nʼalyoka ayogera nti, “Ekindeese gyʼoli okimanyi? Mu bbanga eritali lyʼewala, nzija kuddayo okulwanyisa omulangira owʼe Buperusi, era bwe ndimuwangula, omulangira owʼe Buyonaani alijja.
21Naye okusooka byonna, ka nkutegeeze ebyawandiikibwa ebiri mu kitabo ekya mazima: Tewali nʼomu ambeera okuggyako Mikayiri, omulangira wammwe abakuuma.