1Mu mwaka ogwʼolubereberye ogwʼobufuzi bwa Daliyo Omumeedi, nayimirira okumugumya era nʼokumunyweza.
2“Kaakano nnaakutegeeza ebyʼamazima: Bakabaka basatu abalala balifuga mu Buperusi, nʼowookuna aliba mugagga nnyo okusinga bali bonna; era bwʼalimala okwenyweza olwʼobugagga bwe, alikubiriza bonna okujeemera obwakabaka obwa Buyonaani.
3Nʼoluvannyuma walirabika kabaka owʼamaanyi, alifuga nʼobuyinza bungi nʼakola nga bwʼayagala.
4Nʼoluvannyuma obwakabaka bwe bulisasika ne bugabanyizibwa eri embuyaga ennya ezʼomu ggulu. Ezzadde lye teriribugabana, era nʼobwakabaka obwo tebuliba na buyinza bwe yalina kubanga obwakabaka bwe bulisigulwa ne buweebwa abalala.
5“Kabaka owʼobukiikaddyo aliba wʼamaanyi, naye omu ku bakungu be aliba wʼamaanyi okumusinga era alifuga obwakabaka bwe nʼamaanyi mangi.
6Bwe waliyitawo emyaka, balyegatta wamu nʼomuwala wa kabaka owʼobukiikaddyo, aligenda eri kabaka owʼobukiikakkono okumwegattako, naye talisigaza buyinza bwe so ne kabaka newaakubadde ezzadde lye tebaliwangaala. Mu biro ebyo aliweebwayo ye nʼabo baayita nabo mu lubiri, awamu ne kitaawe, era nʼoyo eyamuwagira.
7“Owʼomu lulyo lwe, yaalitwala ekifo kye; alirumba eggye lya kabaka owʼobukiikakkono nʼayingira mu lubiri lwe, era alibalwanyisa nʼabawangula.
8Aliddira bakatonda baabwe nʼebifaananyi byabwe ebisaanuuse nʼebintu byabwe ebyʼomuwendo ebya ffeeza nʼebya zaabu nʼabitwala e Misiri, era alimala ebbanga nga tazzeeyo kulumba kabaka wʼobukiikakkono.
9Kabaka wʼobukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka wʼobukiikaddyo naye oluvannyuma aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye.
10Batabani be balyeteekateeka ne bakuŋŋaanya eggye eddene era balisaanyaawo ensi eyo ngʼamazzi aganjaala nʼamaanyi, era balituuka ku lubiri lwe.
11“Mu busungu obungi, kabaka wʼobukiikaddyo alirumba kabaka wʼobukiikakkono owʼeggye eddene, nʼamuwangula.
12Kabaka wʼobukiikaddyo bwʼalimala okuwangula eggye eryo eddene, nʼaliwamba, alyegulumiza nʼatta bangi ku bo, naye taliwangaala.
13Bwe waliyitawo ebbanga kabaka wʼobukiikakkono alikuŋŋaanya nʼafuna eggye eddene okusinga eryʼolubereberye, nʼoluvannyuma lwʼemyaka emingi, alirumba nʼeggye lye ngʼalina ebyokulwanyisa ebiwera.
14“Mu biro ebyo bangi balijeemera kabaka wʼobukiikaddyo; era nʼabasajja abʼeffujjo abʼomu ggwanga lyo balitandika okujeema, naye baliremwa, ebigambo bye wayolesebwa bituukirire.
15Awo kabaka wʼobukiikakkono alijja nʼakola ebifunvu era aliwamba ekibuga ekiriko bbugwe. Eggye eryʼomu bukiikaddyo teririsobola kumulwanyisa, newaakubadde abaserikale baabwe abatendeke abakugu ennyo okumusobola.
16Oyo alibalumba, alikola nga bwʼayagala so tewaliba nʼomu alimuziyiza; era alyenyweza mu nsi ennungi, yonna nʼebeera mu buyinza bwe.
17Alijja nʼekitiibwa ekyʼobwakabaka bwe kyonna ngʼamaliridde okukola endagaano ne kabaka wʼobukiikaddyo. Alimuwa muwala we okumufumbirwa awambe obwakabaka, naye enteekateeka ye terituukirira newaakubadde okumuyamba.
18Nʼoluvannyuma alikyuka nʼalumba ensi eyʼoku mabbali gʼennyanja nʼagiwamba; naye walibaawo omuduumizi alikomya okujooga kwe, nʼamwesasuza.
19Oluvannyuma lwʼebyo alikyuka okwagala okuddayo mu mbiri ezʼomu nsi ye, naye alyesittalira mu kkubo nʼagwa, nʼataddayo kulabika.
20“Alimusikira, aliweereza omusolooza wʼomusolo alituukiriza ebyʼobwakabaka, naye mu nnaku ntono alizikirizibwa, si mu lutalo newaakubadde mu busungu.
21“Alidda mu kifo kyʼoyo, aliba musajja mubi nnyo naye nga taweereddwa buyinza buva eri kabaka. Alirumba obwakabaka abantu nga batudde ntende, nʼabuwamba ngʼakozesa enkwe.
22Oluvannyuma lwʼebyo eggye eryʼamaanyi liriwangulwa ne lizikirizibwa mu maaso ge; nʼomulangira owʼendagaano naye alizikirizibwa.
23Awo bwʼalimala okukola endagaano naye, alibeefuulira, nʼaba wʼamaanyi ngʼayambibwako abantu batono.
24Mu biro ebyʼemirembe, alirumba amasaza amagagga, nga tebamwetegekedde, nʼakola bajjajjaabe bye bataakolanga newaakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabula abagoberezi be, ebinyage nʼobugagga, ne yeekobaana okuwamba embiri, naye ekyo kirimala akaseera katono.
25“Alikuŋŋaanya eggye ddene mu maanyi ge nʼobuvumu bwe nʼalumba kabaka wʼobukiikaddyo. Kabaka wʼobukiikaddyo alyerwanako nʼeggye eddene era eryʼamaanyi ennyo; naye talimuyinza olwʼenkwe ze baamusalira.
26Nʼabo abanaagabana ku bugagga bwa kabaka baligezaako okumuzikiriza, era eggye lye lirisaanawo, bangi ku bo ne bafiira mu lutalo.
27Bakabaka bombi abaamalirira okukola ebyʼekyejo mu mitima gyabwe, balituula ku mmeeza emu, ne bakuusagana naye tewalibaawo kyamazima kiteesebwa kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa.
28Kabaka wʼobukiikakkono aliddayo mu nsi ye nʼobugagga bungi, nʼomutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu. Era alikola kye yateekateeka mu mutima gwe nʼoluvannyuma nʼaddayo mu nsi ye.
29“Mu bbanga eryagerebwa, alirumba obukiikaddyo nate, naye ku luno tekiriba nga bwe kyali mu biro ebyʼolubereberye.
30Emmeeri ezʼe Kittimu zirimulwanyisa era aliggwaamu amaanyi, nʼoluvannyuma alikyuka okuddayo nʼasunguwalira endagaano entukuvu. Bwʼaliddayo alikolagana nʼabo abakyawa endagaano entukuvu.
31“Amaggye ge galigolokoka okugwagwawaza awatukuvu wa yeekaalu era aliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. Nʼoluvannyuma balissaawo ebyʼemizizo ebireeta ennaku nʼokubonaabona.
32Alisendasenda abo abaajeemera endagaano, naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliyimirira ne bamuwakanya nʼamaanyi.
33“Abʼamagezi baliwabula bangi, newaakubadde nga balittibwa, nʼabalala ne bookebwa omuliro, nʼabalala ne bawambibwa, nʼabalala ne banyagibwa okumala akaseera katono.
34Bwe baligwa baliyambibwako akatono era bangi abatali ba mazima balibasendasenda ne babeegattako.
35Abamu ku bamagezi balyesittala, balyoke balongoosebwe, batukuzibwe, baleme kuba na bbala mu kiseera ekyʼenkomerero, kubanga ebiro ebyo byategekebwa era birituukirira.
36“Kabaka alikola nga bwʼayagala. Alyenyumiriza ne yeegulumiza okusinga katonda yenna, era alyogera ebitawulikikangako ku Katonda wa bakatonda. Aliba mugagga okutuusa ebiro ebyʼobusungu lwe birituukirira, kubanga ekyasalibwawo kiteekwa okutuukirira.
37Talissa kitiibwa mu bakatonda ba jjajjaabe newaakubadde oyo abakazi gwe beegomba, so talissa kitiibwa mu katonda yenna, naye alyegulumiza okusinga bonna.
38Mu kifo kyʼabo, alissa ekitiibwa mu katonda wʼembiri, katonda ataamanyibwa bajjajjaabe gwalitonera zaabu ne ffeeza, nʼamayinja agʼomuwendo nʼebirabo ebyʼomuwendo omungi.
39Alirumba embiri ezʼamaanyi ennyo ngʼayambibwako katonda omugwira, era abo abalissa ekimu naye, alibawa ekitiibwa kinene, nʼabawa nʼokufuga abantu bangi, nʼensi nʼagigabanyaamu olwʼamagoba.
40“Mu biro ebyʼenkomerero kabaka wʼobukiikaddyo alimulumba, naye kabaka wʼobukiikakkono alifubutuka nʼajja okumusisinkana ngʼalina amagaali nʼabeebagala embalaasi, nʼemmeeri nnyingi, era alirumba ensi nnyingi nʼaziyitamu ngʼembuyaga.
41Alirumba Ensi Ennungi nʼawamba nʼamawanga mangi, naye Edomu ne Mowaabu nʼabakulembeze ba Amoni balimuwona.
42Okufuga kwe kulyeyongera mu mawanga mangi, ne Misiri nga mwʼomutwalidde.
43Alifuga amawanika aga zaabu ne ffeeza, nʼebyʼobugagga byonna ebya Misiri, nʼafuula Abalibiya nʼAbaesiyopiya okuba abaddu be.
44Naye amawulire agaliva mu buvanjuba ne mu bukiikakkono galimukanga, olwo nʼalyoka agolokoka mu busungu obungi ennyo okugenda okuzikiriza nʼokumalawo bangi ku bo.
45Alisimba eweema ze ezʼolubiri wakati wʼennyanja nʼolusozi olulungi era olutukuvu; era naye alikoma so tewaliba amuyamba.