Danyeri 12:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera ekyʼokubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kwʼamawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa.

2Bangi ku beebase mu nfuufu eyʼensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, nʼabalala eri ensonyi nʼokuswazibwa okutaggwaawo.

3Abo abalina okutegeera balyakaayakana ngʼokumasamasa kwʼomu bbanga; nʼabo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ngʼemmunyeenye emirembe nʼemirembe.

4Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera ekyʼenkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno nʼeri, era nʼokumanya nʼamagezi kulyeyongera.”

5Nze Danyeri ne ndyoka ndaba, laba babiri abalala nga bayimiridde mu maaso gange, omu ku lubalama lwʼomugga olumu, nʼomulala ku lubalama lwʼomugga olulwolekedde.

6Omu ku bo nʼagamba omusajja, eyali waggulu wʼamazzi gʼomugga ngʼayambadde linena nti, “Kiritwala bbanga ki ebyewuunyisa ebyo byonna okutuukirira?”

7Omusajja eyali waggulu wʼamazzi gʼomugga ngʼayambadde linena, nʼayimusa omukono gwe ogwa ddyo nʼomukono gwe ogwa kkono eri eggulu, ne mmuwulira ngʼalayira eri oyo abeera omulamu emirembe nʼemirembe, ngʼayogera nti, “Waliyitawo ebbanga lya myaka esatu nʼekitundu. Era amaanyi gʼabantu abatukuvu bwe galimalibwawo, ebintu ebyo byonna ne biryoka bituukirira.”

8Ne mpulira naye ne sitegeera. Kyennava mbuuza nti, “Mukama wange, biki ebiriva mu ebyo byonna?”

9Nʼanziramu nti, “Weetambulire makubo go, Danyeri, kubanga ebigambo bibikiddwako era nʼekitabo kissibbwako envumbo okutuusa ekiseera ekyʼenkomerero.

10Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye abʼamagezi baliba nʼokutegeera.

11“Nʼokuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ngʼeggyiddwawo nʼebyʼemizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.

12Alina omukisa oyo alirindirira nʼatuuka ku nkomerero eyʼennaku olukumi mu bisatu mu asatu mu ttaano.

13“Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka nʼoweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>