Danyeri 2:1-49 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwokubiri ogwʼobufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza, Nebukadduneeza nʼaloota ekirooto; ne yeeraliikirira nnyo, nʼotulo ne tumubula.

2Awo kabaka nʼatumya abasawo, nʼabafumu, nʼabalaguzi nʼAbakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka.

3Nʼabagamba nti, “Naloota ekirooto ekimbuzizza otulo, njagala mukintegeeze nʼamakulu gaakyo.”

4Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”

5Kabaka nʼaddamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, nʼamakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era nʼamayumba gammwe gamenyebwemenyebwe.

6Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto nʼamakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, nʼempeera, nʼekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto nʼamakulu gaakyo.”

7Ne bamuddamu nate nti, “Tubuulire ekirooto kyo, tusobole okukubuulira amakulu gaakyo.”

8Awo kabaka nʼaddamu nti, “Ntegeeredde ddala nga mwagala kufuna bbanga ddene, kubanga mutegedde nga kyensazeewo mmaliridde okukikola,

9era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba nʼokumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole nʼamakulu gaakyo.”

10Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu nʼomu ku nsi ayinza okukola kabaka kyʼasaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bwʼaba wʼamaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ngʼekyo.

11Kabaka kyʼasaba kizibu nnyo. Tewali nʼomu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”

12Ekigambo ekyo ne kisunguwaza nnyo kabaka, kyeyava alagira abagezigezi bonna mu Babulooni okuttibwa.

13Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, era ne wabaawo abasajja abaatumibwa okunoonya Danyeri ne mikwano gye okubatta.

14Awo Danyeri nʼasisinkana Aliyooki omuduumizi wʼabakuumi ba kabaka, bwe yali ngʼagenda okutta abagezigezi abʼe Babulooni; nʼayogera naye mu magezi nʼobukalabakalaba,

15nʼamubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro ekyʼobukambwe bwe kityo?” Aliyooki nʼannyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo.

16Awo Danyeri nʼalaga eri kabaka, nʼasaba aweebwe ekiseera okwogera ne kabaka, alyoke amutegeeze amakulu gʼekirooto.

17Awo Danyeri nʼaddayo ewuwe, nʼategeeza mikwano gye Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya,

18nʼabagamba basabe Katonda owʼeggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu agʼekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu nʼabagezigezi abalala abʼe Babulooni.

19Mu kiro ekyo Danyeri nʼafuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, nʼatendereza Katonda owʼeggulu.

20Nʼayogera nti,

20“Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe nʼemirembe, kubanga amagezi nʼobuyinza bibye.

21Ategeera ebiseera nʼebiro; assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka; awa amagezi abagezigezi, era nʼokumanyisa abo abategeevu.

22Abikkula ebyama ebyakisibwa edda; amanyi ebifa mu nzikiza, nʼekitangaala kibeera naye.

23Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange ompadde amagezi nʼamaanyi, ombikkulidde ekyo kye twakusabye, otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”

24Awo Danyeri nʼalaga eri Aliyooki, kabaka gwe yali alonze okuzikiriza abasajja abagezigezi aba Babulooni, nʼamugamba nti, “Tozikiriza basajja bagezigezi ba Babulooni. Ntwala eri kabaka mmutegeeze amakulu gʼekirooto kye.”

25Amangwago, Aliyooki nʼatwala Danyeri eri kabaka, nʼategeeza kabaka nti, “Nsanze omusajja, omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, asobola okutegeeza kabaka amakulu gʼekirooto kye.”

26Kabaka nʼabuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, nʼamakulu gaakyo?”

27Danyeri nʼaddamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye.

28Waliwo Katonda owʼomu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ezʼenkomerero. Ekirooto nʼokwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.

29“Bwe wali ngʼogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo.

30Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, silwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.

31“Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa.

32Omutwe gwakyo gwali gwa zaabu ennongoose, ekifuba kyakyo nʼemikono gyakyo nga bya ffeeza, nʼolubuto lwakyo nʼebisambi byakyo nga bya kikomo,

33nʼamagulu gaakyo nga ga kyuma. Nʼebigere byakyo ekitundu ekimu kyali kya kyuma, nʼekitundu ekirala nga kya bbumba.

34Awo bwe wali ngʼokyakitunuulira, olwazi ne lutemebwa, naye si na ngalo, ejjinja ne livaako ne likuba ekifaananyi ku bigere byakyo ebyʼekyuma nʼebbumba, ne libyasaayasa.

35Ekyuma nʼebbumba, nʼekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ngʼebisusunku ebyʼomu gguuliro mu biro ebyʼomusana omungi; kibuyaga nʼabifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.

36“Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo.

37Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda owʼeggulu gwe yawa obwakabaka, nʼobuyinza, nʼamaanyi, nʼekitiibwa;

38era akukwasizza abantu nʼensolo ezʼomu nsiko, nʼennyonyi ezʼomu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.

39“Bwʼolivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. Nʼoluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna.

40Oluvannyuma lwʼebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obwʼamaanyi ngʼekyuma; era ngʼekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ngʼekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna.

41Nga bwe walaba ebigere nʼobugere ekitundu nga kya bbumba eryʼomubumbi, nʼekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala nʼamaanyi agʼekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba.

42Ngʼobugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma nʼekitundu ekirala nga kya bbumba, nʼobwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga kyʼamaanyi nʼekitundu ekirala nga kinafu.

43Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo nʼabantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ngʼekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.

44“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda wʼeggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.

45Gano ge makulu agʼokwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, nʼekikomo, nʼebbumba, ne ffeeza, ne zaabu.

45“Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro ebyʼomu maaso. Ekirooto kituufu nʼamakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”

46Awo Kabaka Nebukadduneeza ne yeeyaliira ku lubuto lwe mu maaso ga Danyeri nʼamuwa ekitiibwa, nʼalagira okuwaayo obubaane nʼebiweebwayo eri Danyeri.

47Kabaka nʼagamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi wʼebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”

48Awo kabaka nʼakuza Danyeri nʼamufuula omuntu omukulu ennyo, nʼamuwa nʼebirabo bingi. Nʼamufuula mufuzi wʼessaza lyonna erya Babulooni, nʼamuwa nʼobuvunaanyizibwa obwʼokukulira abasajja abagezigezi bonna abʼe Babulooni.

49Awo Danyeri nʼasaba kabaka akuze ne Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego; kabaka nʼabafuula abakulembeze nʼabawa ebifo ebyʼobuvunaanyizibwa mu ssaza eryʼe Babulooni, Danyeri ye nʼasigala awali kabaka.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>