1Kabaka Nebukadduneeza nʼabumbisa ekifaananyi ekya zaabu, obugulumivu mita amakumi abiri mu musanvu nʼobugazi mita bbiri ne sentimita nsanvu, nʼalagira kiteekebwe mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza lyʼe Babulooni.
2Nʼatumya abaamasaza, nʼabaamagombolola, nʼabemiruka, nʼabawi bʼamagezi, nʼabawanika, nʼabalamuzi, nʼabakungu bonna abʼomu masaza, bajje ku mukolo ogwʼokuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
3Awo abaamasaza, nʼabafuzi, nʼabamateeka, nʼabawi bʼamagezi nʼabawanika, nʼabalamuzi, nʼabakungu bonna abʼomu masaza, ne bakuŋŋaana ku mukolo ogwʼokuwonga ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
4Awo omulanzi nʼayogerera waggulu mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mulagiddwa, mmwe abantu, nʼamawanga, nʼabantu abʼennimi eza buli ngeri,
5bwe munaawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere, na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
6Omuntu yenna atalivuunama nʼakisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.”
7Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, amawanga gonna nʼensi nʼabantu abʼennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
8Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bawawaabira Abayudaaya.
9Ne bagenda eri Kabaka Nebukadduneeza ne bamugamba nti, “Wangaala, ayi kabaka!
10Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, ateekwa okuvuunama nʼasinza ekifaananyi kya zaabu,
11era buli atalivuunama nʼakisinza alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.
12Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ezʼessaza eryʼe Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
13Awo Nebukadduneeza nʼasunguwala nnyo nʼalagira baleete Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego gyʼali; ne baleetebwa mu maaso ga kabaka.
14Nebukadduneeza nʼababuuza nti, “Ebigambo bye mpulira bituufu nti mmwe Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego temuweereza bakatonda bange, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nabumbisa?
15Kaakano, bwe munaawulira eddoboozi lyʼakagombe, nʼendere, nʼennanga, nʼamadinda, nʼekidongo, nʼekkondeere na buli ngeri yonna eyʼebivuga ebyʼamaloboozi, mwetegeke okuvuunama nʼokusinza ekifaananyi kye nabumbisa. Naye bwe mutaakisinze, ku ssaawa eyo yennyini munaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, kale tulyoke tulabe katonda oyo anaayinza okubawonya mu mukono gwange.”
16Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ayi Nebukadduneeza, tekitugwanira kwewolereza mu maaso go ku nsonga eyo.
17Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka.
18Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
19Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nʼamaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ngʼajjudde obuswandi. Nʼalagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase.
20Nʼalagira abamu ku baserikale be abʼamaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nʼoluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro.
21Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe ebyʼekitiibwa, ne seruwale zaabwe, nʼeminagiro gyabwe nʼengoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.
22Olwʼokubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga nʼekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ezʼomuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego.
23Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
24Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya nʼagolokoka mangu nʼabuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?”
25Nʼayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so nʼowookuna ngʼafaanana ngʼomwana wa bakatonda.”
26Nebukadduneeza nʼalyoka asembera ku mulyango gwʼekikoomi ekyaka omuliro, nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.”
27Abaamasaza, nʼabemiruka, nʼabafuzi abʼebitundu, nʼabakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ngʼomuliro tegubookezza, so nʼenviiri zaabwe nga tezisiridde, so nʼengoye zaabwe nga tezookeddwa, so nʼolusu lwʼomuliro nga terubawunyako.
28Nebukadduneeza nʼayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we nʼalokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo.
29Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu owʼeggwanga lyonna, na buli muntu owʼolulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, nʼennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”
30Awo kabaka nʼakuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza eryʼe Babulooni.