Danyeri 4:1-37 LGCB2014 - Bible AI

1Kabaka Nebukadduneeza nʼalangirira eri abantu, nʼamawanga nʼabantu abʼennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bwʼati nti: Emirembe gibeere nammwe!

2Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo ebyʼamagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde.

3Obubonero bwe nga bukulu, nʼebyʼamagero bye nga byewuunyisa! Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe; Nʼokufuga kwe tekuliggwaawo.

4Nze Nebukadduneeza, nnali mpumulidde mu maka gange wakati mu bugagga nga mpumuliddeko mu lubiri lwange.

5Ne ndoota ekirooto ekyantiisa; bwe nnali nga ngalamidde ku kitanda kyange, ne ndaba ebifaananyi mu kwolesebwa, ebyantiisa.

6Kyennava ndagira abasajja bonna abagezigezi abʼe Babulooni baleetebwe mu maaso gange bantegeeze amakulu gʼekirooto.

7Abalogo, nʼabafumu, nʼAbakaludaaya, nʼabalaguzi ne bajja, ne mbategeeza ekirooto, naye ne balemwa okuntegeeza amakulu gaakyo.

8Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ngʼerinnya lya katonda wange bwe liri, era nga nʼomwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, nʼajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.

9Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu wʼabafumu, mmanyi ngʼomwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu gwe, so tewali kigambo ekyʼekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, nʼamakulu gaakyo.

10Kuno kwe kwolesebwa kwe nafunye nga ngalamidde ku kitanda kyange; nalabye omuti wakati mu nsi, nga muwanvu nnyo nnyini.

11Omuti ne gukula ne guba gwʼamaanyi, nʼentikko yaagwo nʼetuuka ku ggulu era nga gulengerwa okuva ku nkomerero yʼensi zonna.

12Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, nʼebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ezʼomu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, nʼennyonyi ezʼomu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.”

13“Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa, ne ndaba omubaka omutukuvu ngʼava mu ggulu.

14Nʼayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, ‘Tema omuti, otemeko nʼamatabi gaagwo; okunkumule amalagala gaagwo, osaasaanye nʼebibala byagwo, nʼennyonyi zibuuke zive ku matabi gaagwo.

15Naye ekikonge kyʼekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba nʼekikomo, mu muddo omuto ku ttale.’ ”

15“ ‘Muleke abisiwale nʼomusulo ogwʼomu ggulu, era muleke agabanire wamu omuddo, nʼensolo ezʼomu nsiko.

16Era nʼamagezi ge agʼobuntu gakyusibwe, afuuke ngʼensolo enkambwe eyʼomu nsiko okumala emyaka musanvu.’ ”

17“ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ngʼOyo Ali Waggulu Ennyo yʼafuga obwakabaka bwʼabantu, era abuwa buli gwʼasiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’ ”

18“Ekyo kye kirooto, nze Kabaka Nebukadduneeza kye naloose. Kaakano ggwe Berutesazza, ntegeeza amakulu gaakyo kubanga tewali nʼomu ku basajja abagezigezi mu bwakabaka bwange ayinza okuntegeeza amakulu gaakyo. Naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.”

19Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nʼatawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka nʼamugamba nti, “Berutesazza, ekirooto nʼamakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.” Berutesazza nʼaddamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, nʼamakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo!

20Omuti gwe walaba, ogwakula ne guba gwʼamaanyi, ogwawanvuwa ne gutuuka ku ggulu, nga gulabibwa ensi yonna,

21ogwaliko amalagala amalungi nʼebibala byagwo nga bingi nnyo, era nga guliko nʼemmere emala bonna, nga nʼensolo ezʼomu nsiko zituula mu kisiikirize kyagwo, nga nʼennyonyi ezʼomu bbanga zisiisira ku matabi gaagwo,

22ye ggwe, ayi kabaka! Okuze nʼoba mukulu era nʼoba wʼamaanyi; nʼobukulu bwo bweyongedde ne butuuka ku ggulu, nʼobuyinza bwo butuuse ku nkomerero yʼensi.”

23“Ggwe ayi kabaka walabye omubaka, era omutukuvu ngʼakka okuva mu ggulu, nʼayogera nti, ‘Tema omuti oguzikirize, naye ekikonge kyʼekikolo kyagwo kireke mu ttaka ngʼokisibye nʼekyuma nʼekikomo mu muddo omuto ogwʼoku ttale; era muleke abisiwazibwe omusulo ogwʼomu ggulu, nʼomugabo gwe gubeere nʼensolo enkambwe ezʼomu nsiko, emyaka musanvu.’ ”

24“Gano ge makulu, ayi kabaka, era lino lye tteeka Oyo Ali Waggulu Ennyo lyʼalangiriridde mukama wange kabaka.

25Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera nʼensolo ezʼomu nsiko; olirya omuddo ngʼente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lwʼolitegeera ngʼOyo Ali Waggulu Ennyo yʼafuga obwakabaka bwʼabantu, era abugabira buli gwʼasiima.

26Ekiragiro ekyʼokuleka ekikonge kyʼekikolo kyʼomuti, amakulu gaakyo ge gano: obwakabaka bwo bulikuddizibwa bwʼolitegeera ngʼeggulu lye lifuga.

27Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole ebyʼobutuukirivu, era nʼebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bwʼoli kaakano.”

28Ebyo byonna byatuukirira ku Kabaka Nebukadduneeza.

29Bwe wayitawo emyezi kkumi nʼebiri, kabaka yali atambulira ku kasolya kʼolubiri lwe olwa Babulooni,

30nʼayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba nʼamaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu ekyʼekitiibwa ekyʼobwakabaka bwange?”

31Awo bwe yali ngʼakyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako.

32Oligobebwa mu bantu era olibeera nʼensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lwʼolitegeera ngʼOyo Aliwaggulu ennyo yʼafuga obwakabaka obwʼabantu era abuwa buli gwʼasiima.”

33Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. Nʼagobebwa mu bantu era nʼalya omuddo ngʼente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogwʼomu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ngʼebyoya byʼempungu nʼenjala ze ngʼenjala zʼennyonyi.

34Oluvannyuma lwʼebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe nʼemirembe. Okufuga kwe tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.

35Abantu bonna abʼoku nsi abalaba nga si kintu, eggye eryʼomu ggulu nʼabantu abʼoku nsi abayisa nga bwʼasiima. Tewali ayinza okumuziyiza, newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”

36Mu kiseera kyekimu okutegeera kwange ne kukomawo, nʼekitiibwa nʼobuyinza obwʼobwakabaka bwange ne bunzirira. Abawi bʼamagezi bange nʼabakungu bange ne bannoonya, ne banziriza entebe yange eyʼobwakabaka ne nnyongerwako obukulu bungi okusinga ne bwe nalina.

37Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka owʼeggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima nʼamakubo ge ga nsonga, nʼabo abʼamalala abakkakkanya.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>