Danyeri 5:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Kabaka Berusazza nʼagabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye.

2Awo Berusazza, yali ngʼanywa omwenge, nʼatumya ebikompe ebya zaabu nʼebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye nʼabakungu be, nʼabakyala be nʼabazaana be babinyweremu.

3Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu nʼebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka nʼabakungu be, nʼabakyala be nʼabazaana be ne babinyweramu.

4Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu nʼaba ffeeza, nʼabʼebikomo, nʼabʼekyuma, nʼabʼemiti nʼabʼamayinja.

5Mu kiseera ekyo ne walabika engalo zʼomukono gwʼomuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka nʼalaba ekibatu kyʼomukono nga kiwandiika.

6Entunula ye nʼekyuka, nʼatya nnyo, nʼamaviivi ge ne gakubagana nʼamagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.

7Kabaka nʼalagira mu ddoboozi eryʼomwanguka baleete abafumu, nʼAbakaludaaya, nʼabalaguzi. Kabaka nʼagamba abasajja abagezigezi abo abʼe Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, nʼantegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ezʼeffulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu owʼekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”

8Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo.

9Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, nʼentunula ye ne yeeyongera okukyuka; nʼabakungu be amagezi ne gababula.

10Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka nʼabakungu be, nʼagenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali nʼayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa.

11Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba nʼokutegeera, nʼamagezi, ngʼaga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, nʼamufuula omukulu wʼabasawo, nʼabafumu, nʼAbakaludaaya, nʼabalaguzi.

12Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ngʼalina omwoyo ogwʼokutegeera, nʼokumanya, nʼokulootolola ebirooto, nʼokubikkula ebigambo ebyʼekyama, nʼokutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu gʼekiwandiiko.”

13Awo Danyeri nʼaleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka nʼamubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda?

14Bantegeezezza ngʼomwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli wa magezi amasukkirivu.

15Abasajja abagezigezi, nʼabafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze nʼamakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola.

16Naye ntegeezeddwa, ngʼoyinza okunnyonnyola amakulu gʼebigambo ebizibu. Kaakano bwʼononsomera ekiwandiiko ekyo, era nʼontegeeza nʼamakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ezʼeffulungu nʼomukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”

17Awo Danyeri nʼaddamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, nʼempeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze nʼamakulu gaakyo.

18“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, nʼobuyinza, nʼekitiibwa nʼobukulu, ayi kabaka;

19era olwʼobuyinza bwe yamuwa, abantu bonna nʼamawanga gonna nʼabantu abʼennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; nʼabo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; nʼabo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, nʼabo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga.

20Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olwʼamalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼekitiibwa kye ne kimuggyibwako.

21Nʼagobebwa mu bantu, nʼebirowoozo bye ne biwaanyisibwa nʼaba ngʼensolo eyʼomu nsiko, nʼabeera wamu ne ndogoyi ezʼomu nsiko, nʼalya omuddo ngʼente, nʼomubiri gwe ne gutoba omusulo ogwʼeggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, yʼafuga obwakabaka bwʼabantu, era yʼateekawo buli gwʼasiima.

22“Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ngʼebyo byonna wabimanya.

23Weegulumizizza eri Mukama wʼeggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, nʼabakungu bo, nʼabakyala bo, nʼabazaana bo mubinywereddemu omwenge, nʼoluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, nʼaba zaabu, nʼabʼebikomo, nʼabʼebyuma, nʼabʼemiti, nʼabamayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza.

24Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo.

25“Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti, MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN.

26“Nʼamakulu gaabyo ge gano: MENE : [1] Katonda akendezezza ennaku zʼobwakabaka bwo era abukomezza.

27TEKEL : [2] Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ngʼobulako;

27

28PERES : [3] Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi nʼAbaperusi.”

29Awo amangwago Berusazza nʼalagira Danyeri ayambazibwe engoye ezʼeffulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era nʼekiragiro ne kiyita nga bwʼali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.

30Ekiro ekyo Berusazza kabaka wʼAbakaludaaya nʼattibwa.

31Daliyo Omumeedi nʼalya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>