Danyeri 6:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna,

2era mu abo nʼalonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga yʼomu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ngʼobwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo.

3Mu biro ebyo Danyeri nʼayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna nʼabaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka nʼateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna zʼobwakabaka bwonna.

4Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri nʼabaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye eyʼebyemirimu egyʼobwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okwʼengeri yonna newaakubadde obulagajjavu.

5Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ngʼekwata ku tteeka lya Katonda we.”

6Abakungu abo nʼabaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale!

7Abakungu bonna, nʼabamyuka baabwe, nʼabaamasaza, nʼabawi bʼamagezi abʼoku ntikko, nʼabakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, nʼokuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ngʼasinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku yʼempologoma.

8Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ngʼamateeka gʼAbameedi nʼAbaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”

9Awo kabaka Daliyo nʼakola etteeka nʼalissaako nʼomukono gwe.

10Awo Danyeri bwe yamanya ngʼetteeka liwandiikiddwa, nʼagenda ewuwe mu nnyumba ye, nʼayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, nʼafukamiranga emirundi esatu olunaku, nʼasabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo.

11Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ngʼekibiina ne basanga Danyeri ngʼasaba era nga yeegayirira Katonda we.

12Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ngʼasinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku yʼempologoma?”

12Kabaka nʼaddamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ngʼamateeka gʼAbameedi nʼAbaperusi bwe gali agatajjulukuka.”

13Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka lyʼowandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.”

14Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo nʼanakuwala nnyo, nʼagezaako okuwonya Danyeri, era nʼamala olunaku lwonna ngʼafuba nnyo okumuwonya.

15Naye abasajja ne bagenda bonna ngʼekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ngʼetteeka eryʼAbameedi nʼAbaperusi kabaka lyʼataddeko omukono, terikyusibwa.”

16Awo kabaka nʼalagira, Danyeri nʼaleetebwa, nʼasuulibwa mu mpuku yʼempologoma. Kabaka nʼagamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gwʼoweereza bulijjo akulokole!”

17Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gwʼempuku, kabaka nʼalissaako akabonero ke ye, nʼabakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri.

18Awo kabaka nʼaddayo mu lubiri lwe, naye nʼatalya kintu na kimu ekiro ekyo, era nʼatakkiriza kusanyusibwa, nʼotulo ne tumubula.

19Ku makya ennyo emambya ngʼesaze, kabaka nʼagolokoka nʼayanguwa okugenda ku mpuku eyʼempologoma.

20Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, nʼamukoowoola mu ddoboozi eryʼennaku ngʼagamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gwʼoweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”

21Danyeri nʼaddamu nti, “Wangaala, ayi kabaka.

22Katonda wange yatumye malayika we, nʼaziba emimwa gyʼempologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”

23Kabaka nʼasanyuka nnyo nʼalagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri nʼaggyibwa mu mpuku, nʼatasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.

24Awo amangwago kabaka nʼalagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku yʼempologoma, wamu ne bakyala baabwe nʼabaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo yʼempuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.

25Awo kabaka Daliyo nʼawandiikira abantu bonna, nʼamawanga gonna nʼabantu abʼennimi zonna mu nsi yonna nti, “Emirembe gibeere gye muli!”

26“Nteeka etteeka mu buli kitundu kyʼobwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya nʼokussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.” “Kubanga ye Katonda omulamu, abeerera emirembe gyonna; nʼobwakabaka bwe tebuliggwaawo, nʼokufuga kwe tekulikoma.

27Alokola era awonya: akola obubonero nʼebyamagero mu ggulu ne ku nsi. Yalokodde Danyeri mu mannyo[4] gʼempologoma.”

28Awo Danyeri nʼaba nʼomukisa mu mirembe gya Daliyo era nʼawangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>