1Mu mwaka ogwʼolubereberye ogwʼobufuzi bwa Berusazza kabaka wʼe Babulooni, Danyeri nʼaloota era nʼayolesebwa ngʼagalamidde ku kitanda kye. Nʼawandiika byonna bye yaloota.
2Danyeri nʼayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ezʼomu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene,
3nʼensolo enkambwe nnya ezʼebika ebyʼenjawulo ne ziva mu nnyanja.
4“Eyasooka yali mpologoma ngʼerina ebiwaawaatiro ebyʼempungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, nʼesitulibwa, nʼeyimirira ku magulu abiri ngʼomuntu, nʼeweebwa omutima ogwʼomuntu.
5“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ngʼeddubu. Nʼesitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, nʼeragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’
6“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ngʼengo, ngʼerina ebiwaawaatiro bina ebyʼennyonyi, ngʼerina nʼemitwe ena, nʼeweebwa nʼobuyinza okufuga.
7“Nʼoluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene agʼekyuma, nʼerya nʼebetenta, nʼerinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ngʼerina nʼamayembe kkumi.
8“Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; nʼamayembe asatu ku ago agʼolubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ngʼagʼomuntu, nʼakamwa akaayogeranga ebyʼokwegulumiza.
9“Era nga nkyali awo ne ndaba,
10
11“Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo ebyʼokwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa nʼettibwa, nʼesuulibwa mu muliro, nʼezikirizibwa.
12Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.
13“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ngʼomwana wʼomuntu, ngʼajja nʼebire ebyʼomu ggulu. Nʼajja okumpi nʼOwedda nʼEdda, nʼasembezebwa mu maaso ge.
14Nʼaweebwa obuyinza, nʼekitiibwa, nʼobwakabaka nʼamaanyi agava waggulu; abantu bonna, nʼamawanga gonna, nʼabantu abʼennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, nʼobwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
15“Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, nʼokwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza.
16Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu gʼebyo byonna.
17‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi.
18Naye abatukuvu abʼOyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe nʼemirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’
19“Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna kyʼetegeeza, etaafaanana ngʼendala zonna, eyali eyʼentiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, nʼenjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, nʼemenyaamenya era nʼerinnyirira ezaasigalawo.
20Ate ne njagala nʼokumanya ku byʼamayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku byʼejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso nʼakamwa akayogeranga ebyʼokwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo.
21Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana nʼabatukuvu ne lyagala okubawangula,
22okutuusa owʼEdda nʼEdda bwe yajja nʼasala omusango, abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era nʼekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.
23“Nʼannyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ngʼobwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta.
24Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo nʼomulala oluvannyuma lwʼabo, atalifaanana ngʼaboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu.
25Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo nʼamateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu nʼekitundu.
26“ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, nʼobuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala.
27Nʼoluvannyuma ekitiibwa, nʼobuyinza nʼobukulu obwʼobwakabaka obuli wansi wʼeggulu, buliweebwa abatukuvu bʼOyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, nʼamatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
28“Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, nʼamaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”