1Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka.
2Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali gʼomugga Ulaayi.
3Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, nʼamayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma.
4Ne ndaba endiga ennume ngʼetomera edda ku luuyi olwʼebugwanjuba nʼeri obukiikakkono, ne ku luuyi olwʼobukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe nʼemu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. Nʼekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo.
5Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ngʼeva ebugwanjuba, nʼesala okuva ku luuyi olumu olwʼensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka.
6Nʼerumba nʼobusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ngʼeyimiridde ku mabbali gʼomugga.
7Ne ngiraba ngʼesemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi nʼegitomera era nʼemenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume nʼeggwaamu amaanyi nʼeteyinza kwetaasa, embuzi ennume nʼegikoona nʼegwa wansi nʼegirinnyirira, ne wataba nʼomu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi gʼembuzi ennume.
8Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo amangi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, we lyali amayembe ana agalabika obulungi ne gamerawo nga gadda eri embuyaga ennya ezʼomu ggulu.
9Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, nʼebuvanjuba nʼeri ensi eyʼekitalo ennungi.
10Ne likula ne lituuka eri eggye eryʼomu ggulu, ne lisuula abamu ku bʼeggye ne mmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira.
11Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu wʼeggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, nʼekifo ekyʼawatukuvu ne lyonoonawo.
12Olwʼobujeemu eggye awamu nʼekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.
13Ne mpulira omutukuvu ngʼayogera, nʼomutukuvu omulala nʼagamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?”
14Nʼaŋŋamba nti, “Okutuusa ngʼennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.”
15Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ngʼekyʼomusajja.
16Ne mpulira eddoboozi lyʼomusajja emitala wʼomugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu gʼokwolesebwa okwo.”
17Awo nʼasembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye nʼaŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana wʼomuntu, ngʼokwolesebwa, kwogera ku biro ebyʼenkomerero.”
18Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ngʼamaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye nʼankwatako nʼangolokosa.
19Nʼayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro ebyʼenkomerero ebyʼokubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa ekyʼenkomerero.
20Endiga ennume gye walaba eyʼamayembe abiri, be bakabaka abʼObumeedi, nʼObuperusi.
21Nʼembuzi ennume endaawo ye kabaka wʼe Buyonaani, nʼejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka owʼolubereberye.
22Nʼamayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ngʼobubwe.
23“Mu biro ebyʼenkomerero ebyʼokufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ngʼalina obukoddyo bungi alivaayo.
24Aliba nʼamaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli kyʼakola. Alizikiriza abantu abʼamaanyi nʼabantu abatukuvu.
25Aliba mulimba nnyo, nʼaleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi nʼabazikiriza, era nʼalumba nʼOmukulu wʼabalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si nʼamaanyi agʼobuntu.
26“Okwolesebwa okukwata ku biro ebyʼoku makya ne ku bya kawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”
27Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. Nʼoluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.