Danyeri 9:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Mu mwaka ogwʼolubereberye ogwa Daliyo mutabani wa Akaswero Omumeedi, gwe yaliiramu obwakabaka bwa Bakaludaaya,

2mu mwaka ogwo ogwʼolubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu agʼebyawandiikibwa, ngʼekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ngʼokubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu.

3Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.

4Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti, “Ayi Mukama Katonda omukulu era owʼentiisa, akuuma endagaano ye so nʼokwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo,

5twonoonye era tusobezza, tukoze ebyʼekyejo nʼebyʼobujeemu, era

6tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, nʼeri abalangira baffe, nʼeri bajjajjaffe, nʼeri abantu bonna abʼomu nsi.”

7“Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, nʼabatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi nʼabali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olwʼobutaba beesigwa gyʼoli.

8Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, nʼabalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye.

9Mukama Katonda waffe ajjudde okusaasira nʼokusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde,

10ne tutawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ngʼayita mu baddu be bannabbi.

11Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde.”

11“Noolwekyo ebikolimo nʼebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Mukama kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go.

12Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, nʼeri abakulembeze baffe, bwʼotuleeseeko akabi akanene; era wansi wʼeggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ngʼekyo ekituuse ku Yerusaalemi.

13Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya Mukama Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima.

14Mukama kyeyava talwa kutuleetako buzibu obwo, kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu buli kyʼakola, naye tetugondedde ddoboozi lye.”

15“Ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe eyaggya abantu bo mu nsi eyʼe Misiri nʼomukono gwo ogwʼamaanyi ne weekolera erinnya, eryayatiikirira ne leero, twayonoona ne tukola ebitali bya butuukirivu.

16Ayi Mukama, ngʼobutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo nʼekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olwʼebibi byaffe nʼebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse ekyʼokusekererwa eri abatwetoolodde bonna.”

17“Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba nʼokwegayirira kwʼomuddu wo, olwʼokusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu.

18Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kwʼekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olwʼobutuukirivu bwaffe, wabula olwʼokusaasira kwo okungi.

19Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne kyʼokolawo! Olwʼokusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo nʼabantu bo nʼeggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”

20Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange nʼebibi byʼabantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lwʼolusozi lwe olutukuvu,

21awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, nʼajja gye ndi mu mbuyaga eyʼamaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka eyʼakawungeezi.

22Nʼaŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi nʼokutegeera.

23Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirirakwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.

24“Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo nʼekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, nʼokuleka ebibi, nʼokutangiririrwa olwʼebikolwa ebitali bya butuukirivu, nʼokuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, nʼokukakasa ebyo ebyayolesebwa nʼebyo ebyalangibwa, nʼokufuka amafuta ku asinga obutukuvu.

25“Manya era tegeera ngʼokuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi nʼokutuusa ku kujja okwʼomufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. Nʼoluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo nʼolusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana.

26Nʼoluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu abʼomufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga nʼawatukuvu, nʼenkomerero ye erijja ngʼamataba, nʼentalo era nʼokuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.

27Alikola endagaano enywevu nʼabantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka nʼebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro ekyʼebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera ekyʼenkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>