1Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye nʼokuyigiriza,
2okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ngʼamaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
3Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era nʼabakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ngʼayogera nabo ku bigambo byʼobwakabaka bwa Katonda.
4Awo bwe yali ngʼalya nabo ekijjulo nʼabalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti,
5
6Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mwʼonooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?”
7Naye Yesu nʼabaddamu nti,
8
9Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba.
10Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ngʼagenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika,
11ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako nʼatwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri yʼemu nga bwe mumulabye ngʼagenda mu ggulu.”
12Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ngʼolugendo olutambulwa ku Ssabbiiti.
13Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano: Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya, ne Firipo ne Tomasi, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote
14Abo bonna ne beeweerayo ddala nʼomutima gumu okusaba wamu nʼabakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
15Awo mu nnaku ezo, Peetero nʼayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, nʼayogera nti,
16“Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi.
17Yuda yali omu ku ffe, era nʼaweebwa omugabo gwʼobuweereza buno.
18“Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa nʼayabika nʼebyenda bye ne biyiika.
19Amawulire ago ne gatuuka ku bantu abʼomu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, ‘Ennimiro yʼOmusaayi!’
20
21“Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga nʼafuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu,
22okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa owʼokuzuukira kwe awamu naffe.”
23Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), nʼowokubiri nga ye Matiya.
24Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gwʼomanyi emitima gyʼabantu bonna, tulage gwʼolonze ku bantu bano ababiri,
25okubeera mu baweereza buno nʼokubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako nʼalaga mu kifo kye ekimusaanira.”
26Awo ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, nʼagattibwa ku batume ekkumi nʼomu.