1Awo mu kibuga Kayisaliya mwalimu omusajja omuserikale, erinnya lye Koluneeriyo, eyakuliranga ekitongole kyʼabaserikale ekikumi ekyayitibwanga Ekitaliano.
2Yali ayagala nnyo Katonda era ngʼamusaamu nnyo ekitiibwa, ye nʼabʼomu maka ge bonna, ngʼagabira nnyo abaavu, era ngʼasaba Katonda bulijjo.
3Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ezʼolweggulo, nʼayolesebwa, nʼalabira ddala malayika wa Katonda ngʼajja gyʼali, nʼamuyita nti, “Koluneeriyo!”
4Koluneeriyo nʼamutunuulira enkaliriza ngʼatidde nnyo. Nʼamubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?”
5Kale nno, tuma basajja bo e Yopa bakimeyo omuntu erinnya lye Simooni era ayitibwa Peetero ajje akukyalire.
6Abeera wa Simooni omuwazi wʼamaliba, era enju ye eri ku lubalama lwʼennyanja.”
7Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo nʼayita abaweereza be babiri nʼomuserikale atya Katonda, omu ku baweereza,
8nʼabannyonnyola byonna ebibaddewo, nʼabatuma e Yopa.
9Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ezʼomu ttuntu, Peetero nʼalinnya waggulu ku kasolya kʼennyumba akaali akatereevu, okusaba.
10Yali ali eyo enjala nʼemuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye nʼewaanyisibwa nʼayolesebwa.
11Nʼalaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ngʼessuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka.
12Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, nʼebyewalula byonna ebyʼoku nsi nʼennyonyi zonna ezʼomu bbanga.
13Awo nʼawulira eddoboozi nga ligamba nti,
14Peetero nʼaddamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
15Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti,
16Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ngʼessuuka ne kizzibwayo mu ggulu.
17Peetero nʼabeera awo ngʼasamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu gʼokwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne kyʼasaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi
18nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.
19Awo Peetero bwe yali ngʼakyebuuza ebyʼokwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu nʼamugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya.
20Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”
21Bwʼatyo Peetero nʼakka wansi, nʼagamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”
22Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu wʼekitongole yʼatutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda nʼamugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda byʼayagala akole.”
23Awo Peetero nʼabayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera nʼagenda nʼabo ngʼawerekerwako abooluganda abamu abʼomu Yopa.
24Ku lunaku olwaddirira Peetero nʼatuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ngʼali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero.
25Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo nʼagwa wansi mu maaso ge nʼamusinza.
26Naye Peetero nʼamuyimusa nʼamugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”
27Nʼagolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde.
28Awo Peetero nʼabagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe agʼEkiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka gʼAbamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ngʼatali mulongoofu.
29Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”
30Awo Koluneeriyo nʼaddamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ezʼolweggulo. Amangwago omusajja nʼayimirira mu maaso gange ngʼayambadde engoye ezitemagana.
31Nʼaŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo byʼogabira abaavu.
32Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi wʼamaliba ali ku lubalama lwʼennyanja.’
33Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe nʼokola bulungi nʼojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira kyʼakutumye okutubuulira!”
34Awo Peetero nʼagamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu,
35wabula ayaniriza abantu bonna abʼomu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola byʼasiima.
36Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ngʼababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna.
37Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lwʼokubatizibwa Yokaana kwe yabuulira.
38Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu nʼamaanyi, eyatambula ngʼagenda akola ebirungi, ngʼawonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.”
39“Ffe bajulirwa abʼebyo byonna bye yakola mu nsi yʼAbayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku muti.
40Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era nʼamulaga eri abantu.
41Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ngʼamaze okuzuukira mu bafu.
42Nʼatutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu yʼoyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi wʼabantu bonna, abalamu nʼabafu.
43Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti Buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
44Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo Mwoyo Mutukuvu nʼakka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo!
45Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ngʼekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga.
46Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.
47“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa nʼamazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?”
48Bwʼatyo nʼalagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.