1Awo abatume nʼabooluganda abaali mu Buyudaaya mwonna ne bawulira nti NʼAbamawanga bakkiriza ekigambo kya Katonda.
2Naye Peetero bwe yakomawo mu Yerusaalemi, abakomole ne bamunenya,
3nga bagamba nti, “Lwaki wakyalira Abaamawanga abatali bakomole nʼoyingira ne mu nnyumba nʼolya nabo?”
4Awo Peetero nʼabannyonnyola byonna ngʼagamba
5nti, “Bwe nnali nsaba, nga ndi mu kibuga kya Yopa, ne njolesebwa. Essuuka ennene ennyo ngʼewaniriddwa ku nsonda zaayo ennya, nʼessibwa mu maaso gange ngʼeva mu ggulu.
6Mu ssuuka eyo ne ndabamu ebisolo byonna ebyʼoku nsi ebirina amagulu ana, nʼebyewalula, nʼennyonyi ezʼomu bbanga.
7Ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti,
8Nze ne nziramu nti, ‘Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.’
9Naye eddoboozi ne liddamu nga liŋŋamba nti,
10Ne kiba bwe kityo emirundi esatu. Oluvannyuma essuuka nʼezzibwayo mu ggulu ne byonna ebyagirimu.”
11“Amangwago laba abasajja basatu abaatumibwa okuva e Kayisaliya ne batuuka ku nnyumba we nnali nsula!
12Mwoyo Mutukuvu nʼaŋŋamba ŋŋende nabo, awatali kulwa, nʼabooluganda bano omukaaga ne bamperekerako, ne tutuuka mu maka gʼomusajja eyali antumidde ababaka abo.
13Nʼatutegeeza nga malayika bwe yamulabikira mu nnyumba ye, nʼamugamba nti, ‘Tuma ababaka e Yopa banoonye Simooni ayitibwa Peetero,
14ajje akutegeeze ggwe nʼabʼomu nnyumba yo nga bwe muyinza okulokolebwa!’”
15“Awo bwe nnali nga nakatandika okubabuulira Enjiri, Mwoyo Mutukuvu nʼabakkako nga naffe bwe yatukkako ku kusookera ddala!
16Awo ne nzijukira ebigambo bya Mukama waffe bwe yagamba nti,
17Olwʼokubanga Katonda ye yawa Abaamawanga bano ekirabo kye kimu, naffe kye yatuwa bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nange nze ani eyandiwakanyizza Katonda?”
18Bwe baawulira ebigambo ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda! Ne bagamba nti, “Ddala, nʼAbamawanga Katonda abawadde omukisa okwenenya bakyuke badde gyʼali abawe obulamu obutaggwaawo.”
19Awo abo abakkiriza abadduka okuva mu Yerusaalemi mu kuyigganyizibwa okwaddirira okuttibwa kwa Suteefano, ne basaasaana ne batuuka ne mu bifo nga Foyiniiki, ne Kupulo, ne Antiyokiya, ne babunya Enjiri, naye nga babuulira Bayudaaya bokka.
20Naye, abamu ku bakkiriza abaagenda mu Antiyokiya nga bava e Kupulo nʼe Kuleene ne babuulira Abayonaani ku Mukama waffe Yesu.
21Awo omukono gwa Mukama ne gubeera wamu nabo, Abaamawanga bangi ne bakkiriza ne bakyuka okudda eri Mukama.
22Awo abʼomu Kkanisa yʼomu Yerusaalemi bwe baawulira ebyo, ne batuma Balunabba mu Antiyokiya ayambe abakkiriza.
23Bwe yatuuka nʼalaba ebyʼekitalo Katonda bye yali akola mu bantu, nʼajjula essanyu, nʼakubiriza abakkiriza banywerere ku Mukama nʼemitima gyabwe gyonna.
24Balunabba yali muntu wa kisa ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu nʼokukkiriza, abantu bangi ne basenga Mukama.
25Oluvannyuma lwʼebyo Balunabba nʼalaga e Taluso okunoonya Sawulo,
26bwe yamulaba nʼamuleeta mu Antiyokiya. Bombi ne babeera mu Antiyokiya okumala omwaka mulamba nga bakolera wamu nʼEkkanisa yaayo, ne bayigiriza abantu bangi nnyo. Wano mu Antiyokiya abayigirizwa we baasookera okuyitibwa Abakristaayo.
27Mu kiseera ekyo ne wabaawo bannabbi abaaserengeta mu Antiyokiya nga bava mu Yerusaalemi.
28Omu ku bo erinnya lye Agabo nʼasituka ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu nʼategeeza ngʼenjala eyʼamaanyi bwʼejja okugwa mu nsi zonna wonna mu bufuzi bwa Kulawudiyo.
29Awo abayigirizwa ne bamalirira okuweereza obuyambi eri abooluganda abaali mu Buyudaaya, buli muntu nga yeesonda nga bwe yasobola,
30ne batuma Balunabba ne Sawulo batwalire abakadde.