Ebikolwa by'Abatume 12:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode nʼatandika okuyigganya abamu ku bakkiriza abʼomu Kkanisa.

2Nʼatta Yakobo muganda wa Yokaana nʼekitala.

3Bwe yalaba nga kyʼakoze kisanyusizza Abayudaaya, nʼakwata Peetero mu kiseera ekyʼEmbaga eyʼEmigaati Egitazimbulukuswa

4nʼamusiba mu kkomera, ngʼamutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina ebyʼabaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ngʼEmbaga yʼOkuyitako ewedde.

5Peetero nʼakuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa nʼenyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.

6Ekiro ekyo, ngʼenkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati wʼabaserikale babiri, ngʼasibiddwa nʼenjegere bbiri, nga ne ku mulyango gwʼekkomera kuliko abakuumi.

7Laba malayika wa Mukama nʼayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika nʼakuba ku Peetero mu mbiriizi nʼamuzuukusa ngʼamugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.

8Malayika nʼamugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale nʼengatto zo.” Peetero nʼakola nga bwʼagambiddwa. Malayika nʼamugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.”

9Awo Peetero nʼagoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ngʼalowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala.

10Ne bayita ku bakuumi abasooka nʼabookubiri ne batuuka ku luggi olunene olwʼekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika nʼamuleka.

11Awo Peetero bwe yeddamu nʼalyoka ategeera bwe bibadde, nʼagamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we nʼanziggya mu mukono gwa Kerode, era nʼamponya nʼebyʼakabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”

12Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, nʼatambula nʼalaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba.

13Awo Peetero nʼakonkona ku luggi olunene olwʼebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda nʼajja okuggulawo.

14Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, nʼadduka buddusi nga nʼoluggi talugguddeewo, nʼategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!”

15Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti kyʼagamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.”

16Naye Peetero nʼayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo.

17Nʼabakomako basirike, nʼalyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. Nʼabagamba nti, “Mutegeeze Yakobo nʼabooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo nʼafuluma nʼalaga mu kifo ekirala.

18Enkeera ekkomera ne lijjula akagugumuko ngʼabaserikale beebuuza nti, “Peetero abulidde wa?”

19Awo Kerode bwe yamutumya ne basanga nga taliiyo, ne bamunoonya nʼababula. Abaserikale bwe baamala okuwozesebwa nʼalagira babafulumye babatte. Oluvannyuma Kerode nʼava e Buyudaaya nʼagenda abeera e Kayisaliya.

20Kerode yali anyiigidde abantu bʼe Ttuulo nʼe Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era nʼabayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka.

21Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode nʼayambala eminagiro gye egyʼobwakabaka nʼatuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka, nʼayogera eri ababaka nʼabantu bonna.

22Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!”

23Amangwago malayika wa Mukama nʼamubonereza, nʼajjula envunyu yenna, ne zimulya nʼafa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, nʼatawa Katonda kitiibwa.

24Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna wonna.

25Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.

article>