1Mu Kkanisa yʼomu Antiyokiya mwalimu bannabbi nʼabayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo owʼe Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo.
2Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu nʼagamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olwʼomulimu gwe mbayitidde.”
3Awo bwe baamala okusaba nʼokusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
4Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo.
5Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
6Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi owʼobulimba, erinnya lye Balisa.
7Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi owʼoku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja wʼamagezi, nʼatumya Balunabba ne Sawulo ngʼayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
8Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu gʼerinnya lye mu Luyonaani), nʼabeekiikamu, nʼagezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo ebyʼokukkiriza.
9Naye Sawulo, era ngʼayitibwa Pawulo, nʼajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, nʼatunuulira Eruma enkaliriza,
10nʼamugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna nʼobukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe wʼobutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu?
11Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”
12Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, nʼakkiriza, era nʼawuniikirira nnyo olwʼokuyigiriza kwʼekigambo kya Mukama.
13Awo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga ekyʼe Panfuliya. Naye Yokaana Makko nʼabalekayo nʼaddayo e Yerusaalemi.
14Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro.
15Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze bʼekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”
16Awo Pawulo nʼayimuka, nʼabawenya nʼayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize!
17Katonda wʼeggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe nʼabafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi yʼEmisiri nʼoluvannyuma nʼabaggyayo nʼomukono gwe ogwʼamaanyi,
18nʼabagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu.
19Nʼazikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo nʼagiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe,
20okumala emyaka ngʼebikumi bina mu ataano.
21Awo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda nʼabawa Sawulo mutabani wa Kiisi, owʼomu kika kya Benyamini, nʼafugira emyaka amakumi ana.
22
23“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri.
24Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okwʼokwenenya.
25Era Yokaana bwe yali ngʼali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, nʼokusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’
26“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba lbulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obwʼobulokozi, bwaffe ffenna wamu.
27Ababeera mu Yerusaalemi nʼabakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino.
28Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte.
29Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, nʼawanulwayo ku musaalaba nʼagalamizibwa mu ntaana.
30Naye Katonda nʼamuzuukiza mu bafu.
31Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ngʼava e Ggaliraaya nʼabalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
32“Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe
33
34
35Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,
36“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, nʼafa, nʼaziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda.
37Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa.
39Buli amukkiriza nʼamwesiga aggyibwako omusango gwʼekibi, nʼaweebwa obutuukirivu.
40Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41
42Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo.
43Abayudaaya bangi awamu nʼabatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
44Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga nʼajja okuwulira ekigambo kya Katonda.
45Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya nʼokujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga.
46Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula nʼobuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti Obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga.
47
48Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
49Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna.
50Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda abʼebitiibwa, nʼabakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina kyʼabantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe.
51Abatume ne babakunkumulira enfuufu eyʼomu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya.
52Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.