Ebikolwa by'Abatume 14:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro lyʼAbayudaaya. Ne babuulira nʼamaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya nʼAbayonaani ne bakkiriza.

2Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda.

3Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira nʼobuvumu, era Mukama nʼakakasanga ekigambo kyʼekisa kye ngʼabawa okukola obubonero nʼebyamagero.

4Naye ekibiina kyʼabantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya nʼabalala ne bakkiriza abatume.

5Abayudaaya nʼabakulembeze baabwe awamu nʼAbamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, nʼokubakuba amayinja.

6Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo,

7era nʼeyo ne babuulirirayo Enjiri.

8Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ngʼebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako.

9Nʼatuula awo ngʼawuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo nʼamwekaliriza amaaso nʼalaba ngʼalina okukkiriza okuwonyezebwa.

10Pawulo nʼamugamba mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja nʼayimirira, nʼatandika okutambula!

11Awo ekibiina kyʼabantu bwe baalaba Pawulo kyʼakoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi kyʼabantu!”

12Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu.

13Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru wʼekibuga, nʼagenda nʼaleeta ente ennume nʼebimuli ku wankaaki, ye nʼekibiina kyʼabantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.

14Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina kyʼabantu nga baleekaana nga bagamba nti,

15“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu nʼensi, nʼennyanja nʼebintu byonna ebirimu.

16Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga.

17Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ngʼabakolera ebirungi okuva mu ggulu, ngʼaweereza enkuba, nʼokubawa ebiro ebyʼokubalizangamu ebibala nʼokubakkusa emmere, era nʼokubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.”

18Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.

19Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru wʼekibuga nga balowooza nti afudde.

20Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, nʼasituka nʼaddayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.

21Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya,

22ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.”

23Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza.

24Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya,

25bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.

26Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olwʼomulimu gwe baakola.

27Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, nʼAbamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olwʼokukkiriza.

28Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali nʼabayigirizwa.

article>