1Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti Singa temukomolebwa ngʼakalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.
2Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba nʼabamu ku bakkiriza abʼomu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume nʼabakadde bʼEkkanisa mu Yerusaalemi.
3Ababaka ne bakwata eryʼe Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga kyʼe Fayiniikiya nʼe Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo nʼokubategeeza ngʼAbamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda.
4Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume nʼabakadde bʼEkkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.
5Naye abamu ku bakkiriza, abʼomu kibiina kyʼAbafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era nʼokugoberera obulombolombo bwonna ngʼempisa zʼEkiyudaaya bwe ziragira.
6Awo abatume nʼabakadde bʼEkkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo.
7Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero nʼasituka nʼabagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize.
8Era Katonda amanyi emitima gyʼabantu, yayaniriza Abaamawanga ngʼabawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa.
9Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe nʼabunaaza ngʼobwaffe bwe yabunaaza.
10Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bwʼabayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka?
11Tukkiriza nti Tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era nʼabamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”
12Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza ebyʼamagero nʼobubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga.
13Bwe baamala okwogera, Yakobo nʼagamba nti, “Abasajja abooluganda, mumpulirize.
14Simooni abategeezezza ngʼokusookera ddala Katonda bwe yakyalira Abaamawanga ne yeeronderamu abo abʼokuweesa erinnya lye ekitiibwa.
15Era kino kituukiriza bannabbi bye baayogera ngʼEkyawandiikibwa bwe kigamba nti,
16
17
18
19“Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obwʼEkiyudaaya.
20Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi nʼokulya ennyama eyʼebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya nʼomusaayi.
21Kubanga ebintu byonna biri mu mateeka ga Musa, era bibuulirwa mu makuŋŋaaniro gʼAbayudaaya mu buli kibuga buli lunaku lwa Ssabbiiti ebbanga lyonna.”
22Awo abatume nʼabakadde bʼEkkanisa nʼabooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira.
23Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ngʼesoma bwʼeti: “Ffe abatume, nʼabakadde bʼekkanisa, eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya nʼabooluganda tubalamusizza!
24Tuwulidde nti Abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima.
25Kyetuvudde tuteesa ffenna, era ne tukkiriziganya bumu, okubatumira ababaka baffe bajjire wamu nʼabaagalwa baffe, Balunabba ne Pawulo,
26abasajja abeewaddeyo okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo nga tebabalirira bulamu bwabwe.
27Tubatumidde Yuda ne Siira bongere okubannyonnyola nʼakamwa ebyo ebiri mu bbaluwa eno.
28Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino:
29Mwewalenga ennyama ettiddwa olwʼokuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga nʼokulya omusaayi, era nʼennyama eyʼebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.”
30Awo abaatumibwa ne basitula ne bagenda mu Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina kyʼabakkiriza ne babakwasa ebbaluwa eyo.
31Bwe baagisoma, essanyu ne liba jjitirivu mu Kkanisa yonna olwʼebyo ebyagirimu.
32Awo Yuda ne Siira, olwokubanga baali bannabbi, ne boogerera ebbanga ggwanvu nga bakubiriza abooluganda okunyweza okukkiriza kwabwe.
33Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi nʼokubeebaza olwʼobubaka bwe baabaweereza.
34Naye Siira nʼasalawo okusigalayo.
35Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu nʼabalala nga babuuliira Enjiri era nʼokuyigiriza.
36Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo nʼagamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali.
37Balunabba nʼakkiriza, wabula nʼayagala ne Yokaana Makko agende nabo.
38Naye Pawulo ekyo nʼatakyagala, kubanga Makko yabaawukanako nʼabaleka e Panfuliya ngʼomulimu ogwabatwala tebannagumaliriza.
39Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, nʼekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba nʼatwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo.
40Pawulo nʼalonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe.
41Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.