1Awo Pawulo nʼasookera e Derube nʼoluvannyuma nʼalaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani,
2abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere.
3Pawulo nʼayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bwʼatyo nʼamala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bwʼali Omuyonaani.
4Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume nʼabakadde bʼEkkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga.
5Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era nʼabantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
6Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi yʼe Fulugiya nʼe Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo.
7Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu nʼatabakkiriza.
8Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa.
9Ekiro ekyo Pawulo nʼafuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ngʼayimiridde mu maaso ge ngʼamwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.”
10Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
11Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli,
12nʼoluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale lyʼAbaruumi, era nga kyʼekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
13Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi nʼekibuga gye baali batutegeezezza nti Waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu nʼabakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo.
14Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ezʼeffulungu ngʼabeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda nʼamubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza.
15Bwʼatyo nʼabatizibwa nʼabʼomu nnyumba ye bonna. Nʼatuyita tumukyalire mu maka ge, ngʼagamba nti, “Obanga mukakasa nti Nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” Nʼatuwaliriza.
16Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ngʼaliko dayimooni eyalagulanga, era nʼafuniranga bakama be ensimbi nnyingi.
17Nʼatuvaako emabega ngʼaleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo lyʼobulokozi.”
18Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo nʼanyiiga. Pawulo kyeyava akyuka nʼagamba dayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni nʼava ku muwala.
19Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri abʼobuyinza.
20Ne babaleeta mu maaso gʼabalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe
21nga bayigiriza empisa nʼobulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe agʼEkiruumi.”
22Ekibiina kyʼabantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo.
23Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi wʼekkomera nʼakuutirwa abakuume butiribiri.
24Omukulu wʼekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, nʼabateekera ddala mu kkomera eryʼomunda, nʼamagulu gaabwe nʼagassa mu nvuba.
25Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba nʼennyimba ezʼokutendereza Katonda, nga nʼabasibe abalala bawuliriza,
26amangwago ne wabaawo musisi owʼamaanyi ennyo. Emisingi gyʼekkomera ne ginyeenyezebwa, nʼenzigi zʼekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era nʼenjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri!
27Omukuumi wʼekkomera nʼazuukuka, nʼalaba ngʼenzigi zonna nzigule, nʼalowooza nti Abasibe bonna badduse, nʼasowolayo ekitala kye yette!
28Naye Pawulo nʼaleekaana nti, “Teweekola kabi!”
29Omukuumi wʼekkomera nʼakankana nnyo ngʼajjudde entiisa nnyingi, nʼalagira ne baleeta ettaala, nʼafubutuka nʼayingira munda, nʼagwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ngʼakankana.
30Awo nʼabafulumya, nʼababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”
31Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe nʼennyumba yo yonna.”
32Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye nʼabʼomu maka ge bonna.
33Mu kiseera ekyo kyennyini nʼabatwala nʼabanaaza ebiwundu. Era ye nʼabʼomu maka ge bonna ne babatizibwa.
34Omukuumi wʼekkomera nʼabatwala mu nnyumba ye, nʼabawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.
35Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi wʼekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.”
36Omukuumi wʼekkomera nʼategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”
37Naye Pawulo nʼaddamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lwʼabantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ngʼate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”
38Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo.
39Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe.
40Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, nʼoluvannyuma ne basitula ne bagenda.