Ebikolwa by'Abatume 17:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro lyʼAbayudaaya.

2Pawulo, ngʼempisa ye bwe yali, nʼagenda nʼababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu.

3Nʼabannyonnyola era nʼabalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona nʼokuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.”

4Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era nʼAbayonaani bangi abatya Katonda awamu nʼabakazi bangi abʼekitiibwa mu kibuga ekyo.

5Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu abʼempisa embi ne babaggya mu nguudo zʼomu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina kyʼabantu.

6Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni nʼabooluganda abamu ne babaleeta mu maaso gʼabakulu bʼekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe,

7era Yasooni oyo yʼabaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogwʼokuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.”

8Ekibiina nʼabakulu bʼekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala.

9Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.

10Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro lyʼAbayudaaya okusinza nʼokubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe.

11Abayudaaya bʼomu Beroya baali balungi okusinga abʼe Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi nʼessanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti Bya mazima.

12Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, nʼabakazi abʼekitiibwa Abayonaani bangi nʼabasajja, nabo ne bakkiriza.

13Naye Abayudaaya abʼomu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina.

14Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.

15Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ngʼabatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gyʼali.

16Ebbanga Pawulo lye yamala ngʼalinda Siira ne Timoseewo mu Asene, nʼalumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ngʼekibuga kijjudde bakatonda abalala.

17Nʼabeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ngʼakubaganya ebirowoozo nʼAbayudaaya nʼAbamawanga abatya Katonda, era nʼayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi nʼakatale.

18Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu nʼokuzuukira kwʼabafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” nʼabalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gyʼayimbirira.”

19Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago[3] nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya,

20kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.”

21Abaasene bonna nʼabagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.

22Awo Pawulo nʼayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, nʼabagamba nti, “Abasajja bʼomu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo;

23kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti: KYA KATONDA ATAMANYIDDWA: Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.”

24“Katonda oyo ye yakola ensi nʼebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama wʼeggulu nʼensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa nʼemikono gyʼabantu,

25era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini yʼawa buli muntu obulamu nʼomukka gwʼassa nʼebintu byonna.

26Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ngʼabaggya mu muntu omu, nʼabasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. Nʼateekateeka amawanga agalisituka nʼagaligwa, era nʼebbanga lye galimala. Era nʼagakolera nʼensalo zaago.

27Yakola bwʼatyo ngʼayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala.

28Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ngʼomu ku bawandiisi bammwe bwʼagamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’”

29“Obanga kino kya mazima nti Tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ngʼekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.

30Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bwʼomuntu ku bintu ngʼebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya.

31Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lwʼalisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”

32Awo bwe baawulira Pawulo ngʼayogera ku kuzuukira kwʼabafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.”

33Bwʼatyo Pawulo nʼafuluma mu lukuŋŋaana lwabwe.

34Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, nʼomukazi erinnya lye Damali nʼabalala.

article>