Ebikolwa by'Abatume 18:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwʼebyo, Pawulo nʼasitula okuva mu Asene nʼalaga mu Kkolinso.

2Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi.

3Olwʼokuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogwʼokukola weema, nʼabeeranga nabo, era nʼakolanga nabo.

4Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ngʼamatiza Abayudaaya nʼAbayonaani.

5Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo nʼawaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo nʼokukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.

6Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era nʼokuvvoola erinnya lya Yesu, nʼakunkumula ebyambalo bye, nʼabagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndimulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”

7Awo Pawulo nʼava eyo nʼalaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ngʼamaka ge galiraanye nʼekkuŋŋaaniro.

8Kulisupo, eyali omukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, nʼabalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.

9Awo ekiro kimu Mukama nʼayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, nʼamugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika!

10Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba nʼakukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.”

11Bwʼatyo Pawulo nʼabeerayo ebbanga lya mwaka mulamba nʼekitundu ngʼayigiriza ekigambo kya Katonda.

12Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga zʼamateeka ewa gavana okumusalira omusango.

13Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.”

14Naye Pawulo bwe yali ngʼatandika okuwoza, Galiyo nʼakyukira Abayudaaya abaawaaba nʼabagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza.

15Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa yʼebigambo nʼamannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gwʼebyo.”

16Bwʼatyo nʼabagoba mu mbuga zʼamateeka.

17Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya owʼekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso gʼembuga zʼamateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.

18Pawulo nʼamala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma nʼasiibula abooluganda nʼasaabala ku nnyanja nʼagenda e Siriya, ngʼatutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olwʼobweyamo bwe yali akoze.

19Bwe baatuuka mu Efeso, banne nʼabaleka awo nʼagenda nʼakubaganya ebirowoozo nʼAbayudaaya mu kkuŋŋaaniro.

20Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye nʼatakkiriza.

21Nʼabagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka nʼabasuubiza nti Agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bwʼatyo nʼasaabala ku nnyanja okuva mu Efeso.

22Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, nʼakyalira Ekkanisa nʼoluvannyuma nʼaserengeta mu Antiyokiya.

23Eyo nʼamalayo ekiseera, nʼasitula nʼatambula nʼayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ngʼakyalira abayigirizwa bonna ngʼabanyweza mu kukkiriza.

24Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezandereya ekyʼomu Misiri, nʼatuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ngʼamanyi nnyo Ebyawandiikibwa.

25Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga wʼamaanyi mu mwoyo, era yayogeranga nʼayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ngʼamanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka.

26Nʼatandika okubuulira nʼobuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi ebyʼEkkubo lya Katonda.

27Awo Apolo nʼayagala okuwunguka agende mu Buyonaani, nʼabooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize nʼessanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda nʼamukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa,

28kubanga yasambajja nʼamaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, nʼasinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti Ddala Yesu ye Kristo.

article>