Ebikolwa by'Abatume 19:1-41 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Apolo ngʼali mu Kkolinso, Pawulo nʼatambula ngʼayita ku lukalu nʼalaga mu Efeso. Nʼasangayo abayigirizwa bangiko,

2nʼababuuza nti, “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?” Ne bamuddamu nti, “Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu.”

3Nʼababuuza nti, “Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bamuddamu nti, “Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza.”

4Awo Pawulo nʼabagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okwʼokwenenya eri abantu ngʼagamba nti Agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.”

5Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu.

6Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu nʼabakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era nʼokuwa obunnabbi.

7Bonna baali abantu nga kkumi na babiri.

8Pawulo nʼayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ngʼabuulira nʼobuvumu bungi okumala emyezi esatu, nʼabategeezanga ekyo kyʼakkiriza era nʼensonga kyava akkiriza, nʼasendasenda bangi okukkiriza ebintu byʼobwakabaka bwa Katonda.

9Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika nʼokwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo nʼabaviira, nʼatwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge kyʼessomero lya Tulaano buli lunaku.

10Ne bamala emyaka ebiri nʼokusingawo nga bakola bwe batyo, era Abayudaaya bonna nʼAbayonaani bonna abaabeeranga mu kitundu ekyo ekya Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama.

11Katonda nʼakozesanga Pawulo ebyʼamagero ebyʼekitalo.

12Obutambaala bwe nʼebiwero ebyʼengoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.

13Waaliwo Abayudaaya abaagendanga nga bagoba baddayimooni ku bantu mu buli kibuga, ne bagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu, nga bagamba dayimooni ali ku mulwadde nti, “Mu linnya lya Yesu, Pawulo gwʼabuulira, nkulagira omuveeko.”

14Waaliwo batabani ba Sukewa, eyali kabona omukulu Omuyudaaya, musanvu, nabo abaakolanga bwe batyo.

15Bwe baakigezaako ku musajja eyaliko dayimooni, dayimooni nʼabagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe, mmwe bʼani?”

16Nʼababuukira nʼabasinza amaanyi bonna, nʼabataagulataagula nnyo, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, era nga baliko ebiwundu.

17Ebigambo ebyo ne bibuna mangu mu Bayudaaya ne mu Bayonaani abaali mu Efeso, era bonna ne bakwatibwa entiisa nnene, nʼerinnya lya Mukama waffe Yesu ne liweebwa ekitiibwa kingi.

18Bangi mu abo abakkiriza ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu ne baatula nʼebikolwa byabwe.

19Abamu abaali abalogo ne baleeta ebitabo byabwe ne babyokya ngʼabantu bonna balaba. Bwe baabalirira omuwendo gwʼensimbi mu bitabo ebyayokebwa, nga guwera nga siringi emitwalo kkumi.

20Awo ekigambo kya Mukama ne kyeyongera okubuna mu maanyi nʼokunywera.

21Oluvannyuma lwʼebyo okutuukirira Pawulo nʼalowooza mu mutima okugenda e Yerusaalemi ngʼayitira mu Makedoniya ne mu Akaya. Nʼagamba nti, “Bwe ndiva eyo kinsaanira nkyaleko ne mu Ruumi.”

22Nʼasindika babiri ku baamuyambanga, Timoseewo ne Erasuto e Makedoniya, ye nʼasigala mu kitundu kya Asiya okumala ebbanga.

23Mu kiseera ekyo ne wabaawo akasasamalo akʼamaanyi ku bigambo byʼekkubo.

24Waaliwo omusajja erinnya lye Demeteriyo, yali muweesi wa bintu bya ffeeza, era nga yʼakola obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwaleetanga amagoba mangi.

25Awo Demeteriyo nʼayita abakozi be bonna wamu nʼabo abakola emirimu egikwatagana nʼegigye, ne bakuba olukuŋŋaana. Nʼalyoka ayogera nabo nti, “Mumanyi nti mu mulimu guno mwe tuggya obugagga.

26Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti Bakatonda abakolebwa nʼemikono si bakatonda.

27Kino kya kabi gye tuli naye si mu Efeso mwokka naye ne mu kitundu kyonna ekya Asiya ne ku yeekaalu ya Atemi ne ku mukazi Oweekitiibwa Atemi. Kubanga ettutumu lyʼalina lijja kumuggwaako, mu bitundu byonna ebya Asiya ne mu nsi gyʼasinzibwa.”

28Awo bwe baawulira ebyo, ne basunguwala, ne batandika okuleekaana nti, “Atemi owʼAbaefeeso ye Mukulu!”

29Ekibuga ne kijjula akayuuguumo, abantu bonna ne badduka nga balaga mu kifo omwazanyirwanga emizannyo nga bwe basikaasikanya Gayo ne Alisutaluuko, abaatambulanga ne Pawulo, babatwale babawozese.

30Pawulo nʼayagala naye okuyingira mu kibiina, kyokka abayigirizwa ne batamukkiriza.

31Nʼabamu ku bʼomu Asiya, abaali mikwano gya Pawulo, ne bamutumira aleme kwewaayo kuyingira mu kifo omwazanyirwanga emizannyo.

32Abantu abaali munda ne bamala galeekaana, ngʼabamu boogera kino nʼabalala kiri kubanga ekibiina kyali kitabusetabuse. Abasinga obungi nga nʼokumanya tebamanyi nsonga yennyini ebakuŋŋaanyisizza.

33Abayudaaya abamu bwe baalengera Alegezanda ngʼali mu kibiina ne bamusika okumuleeta mu maaso. Nʼakoma ku bantu basirike abeeko kyʼabagamba.

34Naye ekibiina bwe kyategeera nga Muyudaaya, bonna ne baddamu buto okuleekaana nti, “Atemi owʼAbaefeeso ye Mukulu!” Ne bakiddiŋŋana emirundi nʼemirundi okumala ngʼessaawa bbiri nnamba.

35Awo omukulu wʼekibuga nʼabasirisa nʼayogera nabo nti, “Abasajja Abaefeso, buli muntu yenna amanyi nti Efeso mwe mukuumirwa essabo ekkulu eryʼomukulu Atemi, gwe tumanyi ngʼekifaananyi ekyava mu ggulu.

36Olwʼokubanga ebyo tewali abiwakanya, temusaana kwecanga olwʼebyo ebyogerwa, era temusaana kwanguyiriza kukola kya bulabe.

37Kale muleese wano abasajja bano abatabbye kintu kya Atemi nʼekimu, wadde okumunyoomoola.

38Obanga Demeteriyo nʼabakozi be balina ensonga ze bavunaana abasajja bano, embuga zʼamateeka weeziri era abalamuzi bajja kuyingira mangu mu nsonga zaabwe. Kirungi bakwate amakubo amatongole.

39Obanga waliwo abeemulugunya ku nsonga endala, ebyo biyinza okutereezebwa mu Lukiiko lwʼEkibuga olwa bulijjo.

40Kubanga singa tetwegendereza, tujja kuvunaanibwa olwʼakasasamalo ka leero, kubanga tetujja kuba na kya kwogera.”

41Awo nʼabasiibula, ne basaasaana.

article>