1Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu.
2Amangwago okuwuuma, nga kuli ngʼempewo eyʼamaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde.
3Ku buli omu ne kutuulako ennimi ngʼezʼomuliro.
4Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ezʼenjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
5Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi wʼeggulu.
6Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lwʼewaabwe.
7Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya?
8Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lwʼewaffe gye twazaalibwa?
9Tubawulira nga boogera ebyʼamagero bya Katonda mu nnimi ezʼAbapaazi, nʼAbameedi, nʼAbeeramiti, nʼezʼabalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya,
10
11Abayudaaya, nʼabakyuka ne basoma Ekiyudaaya, nʼAbakuleete nʼAbawalabu.”
12Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”
13Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”
14Awo Peetero nʼasituka nʼabatume ekkumi nʼomu, nʼasitula ku ddoboozi nʼayogera eri ekibiina, nʼabagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize.
15Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ezʼenkya!
16Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,
17
18
19
20
21
22“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli nʼebyamagero ebyʼekitalo, Katonda bye yamukozesanga ngʼali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi.
23Naye ngʼenteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gyʼabantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba.
24Kyokka Katonda yamuzuukiza ngʼasaanyizaawo obulumi bwʼokufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza.
25Kubanga Dawudi amwogerako nti,
26
27
28
29“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera nʼobuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa nʼaziikibwa, era nʼamalaalo ge weegali ne kaakano.
30Naye Dawudi yali nnabbi, nʼamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala ebyʼomu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe eyʼobwakabaka bwe,
31bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga nʼomubiri gwe tegwavunda.
32Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa.
33Awo bwe yagulumizibwa nʼalaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, nʼaweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, nʼalyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko.
34Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti
35
36“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”
37Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero nʼabatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”
38Peetero nʼabagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.
39Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe nʼeri abaana bammwe, nʼeri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”
40Awo Peetero nʼabategeeza mu bigambo ebirala bingi nʼababuulira ngʼagamba nti Mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama.
41Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ngʼenkumi ssatu.
42Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kwʼabatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba.
43Buli muntu nʼajjula okutya era ebyamagero bingi nʼobubonero bungi ne bikolebwanga abatume.
44Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna.
45Ebyʼobugagga byabwe nʼebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ngʼokwetaaga kwe bwe kwabanga.
46Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe nʼessanyu lingi nʼomutima ogutalina bukuusa,
47nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama nʼabongerangako bulijjo abaalokolebwanga.