1Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo nʼatumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, nʼababuulira ekigambo kya Katonda ngʼabasiibula nʼokubagumya, nʼalyoka asitula nʼalaga mu Makedoniya.
2Nʼagenda ngʼayitaayita mu bitundu ebyo ngʼayogera nʼabantu ebigambo bingi ebyʼokubagumya nʼokubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma nʼatuuka mu Buyonaani,
3nʼamalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, nʼavumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gyʼaba ayita.
4Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gayo Omuderube, ne Timoseewo, nʼAbasiya, Tukiko ne Tulofiimo.
5Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa.
6Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga eyʼEmigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.
7Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo nʼabaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, nʼayogerera ebbanga ddene nnyo, nʼatuusa mu ttumbi ngʼakyayogera!
8Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka.
9Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ngʼakyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu nʼagwa ebweru nʼafiirawo.
10Pawulo nʼakka wansi nʼamusitula nʼamuwambaatira mu mikono gye. Nʼagamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!”
11Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, nʼalyoka asitula nʼagenda.
12Ne baddamu amaanyi, nʼomuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.
13Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu.
14Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene.
15Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto.
16Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti Singa asobola, atuuke mu Yerusaalemi ngʼolunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.
17Bwe yatuuka e Mireeto, nʼatumira abakadde bʼEkkanisa ya Efeso bajje bamulabe.
18Awo bwe baatuuka Pawulo nʼagamba nti, “Mumanyi bulungi ngʼokuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya nʼokutuusa leero,
19nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza nʼobuwombeefu nʼamaziga nʼokugezesebwa ebyantukako olwʼenkwe zʼAbayudaaya.
20Naye saalekayo kubabuulira bituufu ebyʼokubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe,
21nga ntegeeza Abayudaaya nʼAbayonaani okwenenya badde eri Katonda, nʼokuba nʼokukkiriza mu Mukama waffe Yesu.
22“Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo.
23Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa nʼokubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga.
24Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, nʼobuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri eyʼekisa kya Katonda.
25“Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka.
26Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olwʼomusaayi gwa bonna,
27kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda.
28Mwekumenga era mukuumenga nʼekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira nʼomusaayi gwe.
29Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo.
30Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga.
31Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana nʼekiro, ne mundeeta nʼamaziga.
32“Kaakano mbasigira Katonda nʼekigambo ekyʼekisa kye ebiyinza okubazimba nʼokubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa.
33Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye ebyʼomuntu nʼomu.
34Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange nʼebyʼabo bendi nabo.
35Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola nʼamaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate nʼokujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti,
36Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, nʼafukamira nʼasaba nabo bonna.
37Buli omu nʼakaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula,
38nga banakuwavu, naye okusinga byonna olwʼekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.