Ebikolwa by'Abatume 21:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1Awo bwe twamala okusiibulagana ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Rodise, we twava okulaga e Patala.

2Okuva awo twagendera mu kyombo ekyali kigenda mu Foyiniikiya.

3Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gwʼe Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu.

4Bwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu nʼayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi.

5Ennaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe nʼabaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba.

6Bwe twamala okusaba ne tusiibulagana. Ffe ne tuyingira ekyombo kyaffe, ne bannaffe ne baddayo ewaabwe.

7Bwe twava e Ttuulo ne tugoba e Potolemaayi, ne tulamusaganya nʼabakkiriza, ne tumala nabo olunaku lumu.

8Enkeera ne tweyongerayo okutuuka e Kayisaliya, ne tubeera mu maka ga Firipo Omubuulizi wʼEnjiri, eyali omu ku badiikoni omusanvu abaasooka.

9Yalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo ekyʼobunnabbi.

10Ne tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ngʼava Buyudaaya.

11Bwe yajja okutulaba, nʼaddira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu nʼemikono, nʼagamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bwʼati nannyini lukoba luno bwʼalisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gyʼAbamawanga.’ ”

12Bwe twawulira ebigambo ebyo ffenna awamu nʼabatuuze bʼomu kitundu ekyo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi.

13Naye Pawulo nʼaddamu nti, “Lwaki mukaaba nʼokwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese nʼokufiira mu Yerusaalemi olwʼerinnya lya Mukama waffe Yesu.”

14Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama kyʼayagala kye kiba kikolebwa.”

15Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi.

16Abamu ku bayigirizwa abʼe Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza.

17Bwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza nʼessanyu lingi nnyo.

18Awo enkeera ffenna ne tugenda ne Pawulo ngʼagenda okulaba Yakobo, nʼabakadde bʼEkkanisa yʼomu Yerusaalemi bonna baaliwo.

19Okulamusaganya bwe kwaggwa, Pawulo nʼabategeeza kinnakimu byonna Katonda bye yamukozesa ngʼaweereza mu baamawanga.

20Bwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ngʼAbayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, nʼempisa, nʼobulombolombo, ebyʼEkiyudaaya.

21Baategeezebwa nti Oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu Bamawanga okuleka amateeka ga Musa baleme okukomola abaana baabwe wadde okugoberera empisa zʼEkiyudaaya.

22Kale kaakano kiki ekinaakolebwa? Kubanga awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti Ozze.

23Kale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa.

24Genda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ezʼokumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya nʼokukuuma amateeka, nʼebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa.

25Ku nsonga zʼAbamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya nʼakatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, nʼobutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era nʼokwewala obwenzi.”

26Ku lunaku olwaddirira Pawulo nʼatwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. Nʼayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera kyʼokwerongoosa ekyʼennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.

27Awo ekiseera ekyʼennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo

28nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ngʼayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ngʼagireetamu Abayonaani.”

29Kubanga baamulabako ngʼatambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.

30Ekibuga kyonna ne kijagalala olwʼokuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda yʼekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi.

31Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu wʼekitongole kyʼabaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo.

32Amangwago nʼasindika abaserikale nʼabaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina kyʼabantu. Awo bwe baalaba omuduumizi nʼabaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.

33Awo omukulu wʼabaserikale nʼakwata Pawulo nʼalagira asibibwe mu njegere bbiri, nʼalyoka abuuza nti, “Yʼani, era akoze ki?”

34Ne bamuddamu nga baleekaana, ngʼabamu bamugamba kino nʼabalala nga bagamba kiri. Nʼalemwa okubaako ekiramu kyʼaggyamu olwʼokuleekaana okungi. Kyeyava alagira batwale Pawulo mu nkambi yʼabaserikale.

35Bwe yamutuusa ku madaala, ekibiina kyʼabantu ne bayitirira obukambwe, abaserikale ne basitula Pawulo.

36Ekibiina kyʼabantu abaali bagoberera ne boogera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Mumutte!”

37Awo abaserikale bwe baali bagenda okuyingiza Pawulo mu nkambi yaabwe, nʼasaba omukulu waabwe nti, “Onzikiriza mbeeko kye nkugamba?” Nʼamuddamu nti, “Omanyi nʼOluyonaani?

38Ye si ggwe Mumisiri eyajeemesa abantu mu nnaku ezayita, nʼokulembera abatemu enkumi nnya nʼobalaza mu ddungu?”

39Pawulo nʼaddamu nti, “Nedda, nze ndi Muyudaaya, ewaffe Taluso ekiri mu Kirukiya, ekibuga ekitanyoomebwa, era omutuuze. Nkwegayiridde nzikiriza njogere nʼabantu bano.”

40 Awo omuduumizi wʼabaserikale kwe kumukkiriza, Pawulo nʼayimirira ku madaala nʼakoma ku bantu basirike, amangwago ekibiina kyonna ne kisiriikirira, nʼalyoka ayogera nabo mu Lwebbulaniya ngʼabagamba nti,

article>