1“Abasajja abooluganda, ne bakadde bange, mumpulirize.”
2Bwe baawulira ngʼayogera Lwebbulaniya ne beeyongera okusirikira ddala.
3Pawulo nʼabagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso ekyʼomu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe nʼobwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero.
4Nayigganya abantu bʼEkkubo nʼokubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja nʼabakazi ne mbasibisa mu kkomera.
5Era Kabona Asinga Obukulu nʼabʼOlukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.
6Naye mu ssaawa ezʼomu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala ekyʼamaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola.
7Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti,
8“Ne mbuuza nti, ‘Ani, Mukama wange?’ Nʼanziramu nti,
9Be nnali nabo baalaba ekitangaala, naye eddoboozi lyʼoyo eyayogera nange tebaaliwulira.
10Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’ Mukama waffe nʼanziramu nti,
11Bannange ne bankwata ku mukono ne bannyingiza mu Damasiko, kubanga ekitiibwa kyʼekitangaala kiri ekyʼamaanyi kyali kinzibye amaaso.
12Omusajja omu ayitibwa Ananiya, ngʼatya Katonda era ngʼagondera amateeka gonna agʼEkiyudaaya, nʼAbayudaaya bonna mu Damasiko nga bamussaamu ekitiibwa,
13nʼajja okundaba nʼayimirira we ndi nʼaŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba!
14“Awo nʼaŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere byʼayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke.
15Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ngʼobategeeza byʼolabye era ne byʼowulidde.
16Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bwʼoyatudde erinnya lye.’
17“Ne nkomawo mu Yerusaalemi. Naye olunaku lumu bwe nnali mu Yeekaalu nga nsaba, ne mbeera ngʼeyeebase,
18ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ngʼayogera nange, nʼaŋŋamba nti,
19“Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo nʼokusibibwa ne basibibwa mu kkomera.
20Era nʼomujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye zʼabo abaali bamutta.’
21Naye Mukama waffe nʼaŋŋamba nti,
22Ekibiina kyʼabantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!”
23Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka nʼengoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga.
24Omukulu wʼabaserikale nʼayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, nʼalagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana.
25Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo nʼabuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”
26Omuserikale nʼagenda eri omuduumizi waabwe nʼamutegeeza nti, “Kiki kino kyʼogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”
27Omuduumizi wʼabaserikale nʼajja nʼabuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?” Pawulo nʼamuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”
28Omuduumizi wʼabaserikale nʼamugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.” Pawulo nʼamuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”
29Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, nʼomuduumizi waabwe naye nʼatya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba nʼokumukuba kibooko.
30Enkeera omuduumizi wʼabaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, nʼasumulula Pawulo mu njegere, nʼalagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lwʼAbayudaaya Olukulu lutuule. Nʼalagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.