Ebikolwa by'Abatume 23:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Pawulo nʼatunuulira Olukiiko enkaliriza, nʼagamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.”

2Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, nʼalagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa.

3Pawulo nʼamugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ngʼekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ngʼolagira bankube mu ngeri eyo, so ngʼosuubirwa okugagoberera ngʼonsalira omusango?”

4Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bwʼotyo bwʼoyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”

5 Pawulo nʼaddamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”

6Awo Pawulo bwe yalaba ngʼabamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo nʼabalala nga Bafalisaayo, nʼayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kwʼabafu!”

7Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati wʼAbafalisaayo nʼAbasaddukaayo,

8kubanga Abasaddukaayo bagamba nti Tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.

9Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono kyʼakoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?”

10Ne beeyongera nnyo okuwakana ngʼabamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ngʼabalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi wʼabaserikale lwe yatandika okutya ngʼalaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, nʼalagira abaserikale be bagende bamubaggyeko nʼamaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.

11Ekiro ekyo Mukama waffe nʼayimirira awali Pawulo, nʼamugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bwʼonjulidde nʼobuvumu wano mu Yerusaalemi, era bwʼotyo bwʼonookola ne mu Ruumi.”

12Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti Tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo!

13Omuwendo gwʼabantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana.

14Awo ne bagenda eri bakabona abakulu nʼabakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo.

15Noolwekyo mugambe omuduumizi wʼabaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti Waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”

16Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo nʼagenda mu nkambi yʼabaserikale nʼategeeza Pawulo.

17Awo Pawulo nʼayita omuserikale atwala banne nʼamugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu kyʼayagala okumutegeeza.”

18Omuserikale nʼatwala omulenzi eri omuduumizi waabwe nʼamugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise nʼantuma ndeete omulenzi ono gyʼoli ngʼalina kyʼayagala okukutegeeza.”

19Omuduumizi wʼabaserikale nʼakwata omulenzi ku mukono nʼamuzza wabbali nʼamubuuza nti, “Kiki kyʼoyagala okuntegeeza?”

20Omulenzi nʼamubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko kyʼayongera okwennyonnyolako.

21Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya nʼobutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti Onokkiriza.”

22Omuduumizi wʼabaserikale bwe yali asiibula omulenzi nʼamukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti Ontegeezezza ebintu bino.”

23Awo omuduumizi wʼabaserikale nʼayita abamyuka be babiri nʼabalagira nti, “Mutegeke ekibinja kyʼabaserikale ebikumi bibiri, nʼabeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, nʼabʼamafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu.

24Mutegekeewo nʼembalaasi Pawulo zʼajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”

25Awo nʼawandiikira gavana ebbaluwa eno nti:

26“Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.

27Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi.

28Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze.

29Ne nvumbula ngʼensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na byʼamateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera.

30Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olwʼokumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gyʼoli.”

31Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli.

32Enkeera ekibinja ekyʼoku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe.

33Abaserikale abʼomu kibinja ekyʼoku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana nʼebbaluwa ne bagiwaayo.

34Gavana bwe yamala okugisoma, nʼabuuza Pawulo essaza mwʼava. Pawulo nʼaddamu nti, “Nva mu Kirukiya.”

35Awo gavana nʼamugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” Nʼalagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.

article>