Ebikolwa by'Abatume 24:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, nʼatuuka mu Kayisaliya ngʼali nʼabamu ku bakulembeze bʼAbayudaaya era ngʼaleese nʼomwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo.

2Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo nʼayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, nʼawoza bwʼati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, nʼenkulaakulana olwʼamagezi go.

3Tukwebaza nnyo olwa bino byonna byʼotukoledde.

4Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.

5“Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti yʼAbaruumi, omukulembeze mu ttabi lyʼeddiini erimanyiddwa ngʼeryʼAbannazaalaayo.

6Nʼokugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango nʼekibonerezo ngʼamateeka gaffe bwe galagira,

7naye Lusiya, omuduumizi wʼabaserikale nʼajja nʼatumuggyako nʼamaanyi,

8nʼalagira nti Awozesebwe mu mateeka gʼEkiruumi, era nʼalagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bwʼonoogenda ngʼomubuuza ebintu bino byonna, amazima gʼensonga zaffe gajja kweyoleka.”

9Olwo nʼAbayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.

10Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana nʼamuwenya asituke ayogere. Pawulo nʼayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bwʼosaze emisango egifa ku nsonga zaffe ezʼEkiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go.

11Ggwe bwʼonoobuuza, ojja kuzuula nti Ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu.

12Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga.

13Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti Nabikola.

14Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda nʼokumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe nʼobulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka gʼEkiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi.

15Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti Walibaawo okuzuukira kwʼabatuukirivu nʼababi.

16Olwʼessuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba nʼemmeeme ennongoofu eri Katonda nʼeri abantu.”

17“Oluvannyuma lwʼemyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ngʼAbayudaaya mbaleetedde nʼensimbi ezʼokubayamba, nga nange neeretedde ekirabo ekyʼokuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu.

18Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze nʼokumwa omutwe ngʼamateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo.

19Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana.

20Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lwʼAbayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo.

21Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kwʼabafu!’”

22Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, nʼagamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi wʼabaserikale mu Yerusaalemi, bwʼalituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”

23Nʼalagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ngʼalekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba nʼokumuleetera bye yeetaaga.

24Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi nʼajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. Nʼatumya Pawulo, ne bamuwuliriza ngʼabategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu.

25Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, nʼokwefuga mu bikolwa, nʼokusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi nʼatya nnyo, nʼagamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.”

26Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi nʼayogera naye.

27Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto nʼadda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olwʼokwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda nʼaleka nga Pawulo musibe mu kkomera.

article>