1Fesuto yamala ennaku ssatu mu Kayisaliya ngʼazze okutandika emirimu gye emiggya, nʼasitula okugenda e Yerusaalemi.
2Bwe yali ali eyo, bakabona abakulu nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne bamutegeeza bye baali bavunaana Pawulo.
3Ne bamwegayirira abayambe atumye Pawulo aleetebwe mu Yerusaalemi, kubanga baali bategeka bamuttire mu kkubo.
4Naye Fesuto nʼabaddamu nti, “Nga Pawulo bwʼali mu Kayisaliya, ate nga nange nzija kuddayo mu nnaku ntono,
5abakulembeze mu nsonga ezo tugende nabo nga nzirayo.” Obanga waliwo omusango Pawulo gwʼazizza baguleete mu mbuga zʼamateeka awozesebwe.
6Oluvannyuma lwʼennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto nʼaserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera nʼalagira Pawulo aleetebwe mu mbuga zʼamateeka.
7Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egyʼamaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo.
8Pawulo nʼawoza ngʼagamba nti, “Simenyanga mateeka ga Kiyudaaya nʼakamu, era siyonoonanga Yeekaalu, so sijeemeranga Kayisaali.”
9Fesuto, olwʼokwagala okusanyusa Abayudaaya, nʼabuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gyʼoba owoleza emisango gino mu maaso gange?”
10Awo Pawulo nʼaddamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso gʼembuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya.
11Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ngʼemisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kwʼosinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.”
12Fesuto, bwe yamala okuteesaamu nʼabamuwa amagezi, nʼaddamu nti, “Nga bwʼojulidde ewa Kayisaali, kale, onootwalibwa ewa Kayisaali.”
13Awo bwe waayitawo ennaku Kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka mu Kayisaliya okukyalira Fesuto.
14Ku bugenyi baamalako ennaku nnyingi, era mu bbanga eryo Fesuto nʼategeeza kabaka ebyʼomusango gwa Pawulo. Nʼamugamba nti, “Waliwo omusajja wano Ferikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe.
15Bwe nnali mu Yerusaalemi, bakabona ne bantegeeza emisango gye baali bamuvunaana, ne bansaba musalire omusango gumusinge era abonerezebwe.
16“Ne mbannyonnyola nti Mu mateeka gʼEkiruumi, omuntu tasalirwa musango kumusinga nga tamaze kuwozesebwa nʼaweebwa omukisa okuwoza nʼabamuwawaabira.
17Bwe bajja wano okuwoza omusango ogwo, enkeera nʼempita Pawulo nʼajja mu mbuga zʼamateeka.
18Naye emisango gye baamuwawaabira si gye gyo gye nnali nsuubira.
19Gyali gikwata ku bya ddiini yaabwe, ne ku muntu ayitibwa Yesu eyafa, naye Pawulo gwʼategeeza abantu nti Mulamu!
20Ebyo ne binnemesa. Kwe kumubuuza obanga yandyagadde emisango egyo okugiwoleza mu Yerusaalemi.
21Naye Pawulo nʼajulira eri Kayisaali! Bwe ntyo ne mmuzzaayo mu kkomera, nteeketeeke okumuweereza eri Kayisaali.”
22Agulipa nʼagamba nti, “Nange nandiyagadde okuwulira ku musajja ono byʼagamba.” Fesuto nʼaddamu nti, “Enkya onoomuwulira.”
23Awo ku lunaku olwaddirira Agulipa ne Berenike ne bayingira nʼekitiibwa kinene nnyo mu kisenge ekinene we batuukira, nga bawerekerwako abaserikale nʼabantu abatutumufu mu kibuga. Fesuto nʼalagira ne baleeta Pawulo.
24Fesuto nʼalyoka agamba nti, “Kabaka Agulipa, nammwe mwenna abali wano ono ye musajja, Abayudaaya aba kuno nʼabo abʼomu Yerusaalemi, gwe bansabye attibwe!
25Nze nga bwe ndaba, talina kyʼakoze kimusaanyiza kufa. Naye bwe yajulira eri Kayisaali, nange kwe kusalawo okumuweereza e Ruumi.
26Naye bye nnassa mu bbaluwa emutwala eri Kayisaali nange bimbuze, kubanga taliiko musango gwennyini gwe yazza! Kyenvudde muleeta mu maaso gammwe mwenna, nʼokusingira ddala gyʼoli, Kabaka Agulipa, nga neesiga ngʼokuva mu ebyo bye munaamubuuza, naye byʼanaddamu, nzija kufunamu bye nnassa mu bbaluwa ya Kayisaali.
27Kubanga sirowooza nti Kirungi okuweereza omusibe eri Kayisaali ngʼomusango gwʼazizza tegunnyonnyose.”